Ekitongole kya Poliisi kivuddeyo ne kitangaaza ku kifananyi ekyafulumidde ku mikutu gya mawulire olunaku lwa mande nga kiraga nti Omubaka wa Gavumenti e Mukono Fred Bamwine yabadde yeenanise engoye za Poliisi okusobola okuddumira ab’ebyokwerinda okugumbulula abawagizi ba Kyagulanyi.
Olunaku lwe ggulo waliwo ekifananyi ekyetakuzza abantu emitwe nga kilaga omuselikale wa Poliisi eyabadde alambiddwako ku ngoye ze elinnya Asiimwe, nga kino kyetololedde mu mikutu emigatta bantu nga abasinga bagamba nti kyandiba nga RDC Fred Bamwine yeyefudde nayambala engoye za Poliisi.
Wabula mu lukungaana lwa bannamawulire enkya ya leero omwogezi wa Poliisi mu Kampala ne miriraano Patrick Onyango atangaazizza nti ono yabadde musilikale waabwe akulira Poliisi ye Mbalala mu Mukono amanyiddwanga ASP Asiimwe, abantu gwe balowozezza nti ye Mubaka wa Gavumenti.
“Ekifananyi kino tekyabadde kya RDC Fred Bamwine nkiddamu era twagala okuteeka kino mu lwatu nti mu bikwekweto ebyakoleddwa olunaku lwe ggulo tewali muntu yenna yafudde nga kivudde ku kukubwa masasi, omuntu eyafudde Jonathan Ssempala yafudde kabenje ka mmotoka ku kyalo mayangayanga ku ludda e Nagojje” Onyango bwategezezza bannamawulire ku lw’okubiri.
“Abalala 4 abaafunye akabenje baabadde m mmotoka eyabadde edduka emisinde emingi eyefudde ne balumya era ne baddusibwa mu ddwaliro e Mulago, okujjako Vicent sempijja yakyali mu ddwaliro e Kawolo, abali e Mulago kuliko Moses Sentongo, Steven Sebuliba, Robert Kigozi ne Medi Sebaddeki nga bonna batuuze be Nakifuma mu Mukono” Onyango bwayongeddeko.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com