OMUKULEMBEZE we kibiina kya National Unity Platform era nga avuganya ku kifo ky’obukulembeze bwe Ggwanga Robert Kyagulanyi Sentamu yeeganye ebimwogerwako nti musosoze mu mawanga, nagamba nti bino ssi bituufu kubanga takilowozanga nako.
Kyagulanyi bwe yabadde ayingira Buganda mu Disitulikiti ye Kyankwanzi yalaze obwennyamivu eri abantu abamwogerako nti alina amawanga gaasosola, nagamba nti kino kikyamu kubanga yawasa n’amukazi munyakole n’olwekyo ab’ogera ebyo baagala kujja bantu ku mulamwa ogw’okukyusa obukulembeze mu mirembe.
Ono eyabadde yeegattiddwako mukyalawe Barbie Itungo Kyagulanyi bakira buli watuuka omukyala yasooka okwogera olwo nalyoka yeyongerayo awalala.
Bwe yabadde ku kyalo Bikooma mu Kyankwanzi nga taneyongerayo Kiboga na Kassanda Kyagulanyi yagambye nti olumu yali ku ttivvi n’alaba omu ku bakungu abanyaze e Ggwanga lino okulimalawo nga agamba mbu aba NUP basosola mu mawanga ne yewunya kubanga alina abantu bangi baakolagana nabo mu by’obufuzi, eby’enfuna ne bilala kyokka nga ssi Baganda.
“Baganda bange tetwesembereza bigambo bya abantu bano kubanga ekigendererwa kyabwe kutujja ku mulamwa gwe tuliko, mbasaba tubeere bumu, tulwane okukyusa obukulembeze mu mirembe okuva mu bantu ab’olubatu abanyaguludde e Ggwanga lino” Kyagulanyi bwe yagambye.
E Kassanda yayaniriziddwa omubaka waayo Patrick Nsamba eyali owe kibiina kya NRM wabula nakyuka nadda mu NUP.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com