MUNNAMAWULIRE Bwaddene Basajja Mivule nga olumu yeeyita Nsolo Nkabwe avuddeyo nayogera ku mmundu ekika kya Pisito gy’akaalakaala nayo ennaku zino mu kiwato.
Ono agamba nti eno yagifuna oluvanyuma lw’okumanya nti abantu be yali ayolekedde okwanganga, nga be bawagizi b’omu ku beesimbyewo ku bwa bwa Pulezidenti Robert Kyagulanyi Sentamu Bobi Wine ssi bangu nga bayinza okumutuusako obulabe ssawa yonna.
Agamba nti bano baali basusse okumutiisatiisa okumutuusaako obulabe naye kwe kubasalira amagezi n’afuna emmundu okusobola okubeerinda.
“Bobi Wine ne basajja be tebalina busobozi kutwala Ggwanga lino mu maaso, kubanga namanya okukitegeera nti balina emize emikyamu gye boolekedde okusinga mu bannaUganda omuli obusiyazi saako n’okunywa enjaga nze Mivule bye siyinza kwetabamu.
Ate bwe tubagambako nti muve ku bantu ababawa obusente okuva e bweru abasiyazi nga batiisatiisa okututta, naye ndi mwetegefu okubakwatako era mbasse ku ttaka” Basajja Mivule bwe yagambye nga awayamu ne munnamawulire Josephat Seguya ku lw’okusatu.
gye buvuddeko Mivule yeewunyisa ensi yonna bwe yegaana oludda oluvuganya ne yeegatta ku Gavumenti ya NRM eri mu buyinza gye yali amaze akabanga ng’asojja ku luwonzi olw’ebikolwa bye yali agamba nti bilumya bannaUganda.
Ono n’olumu yakwatibwako ab’ebyokwerinda naatwalibwa ku kitebe kya bambega e Kireka naggulwako emisango egy’ekuusa ku kusiga obukyayi mu bamu ku bantu abali mu Uganda, oluvanyuma n’ateebwa.
Ekyaddirira kwe kuyita olukiiko lwa bannamawulire nategeezaa nti yali yeegasse ku Gavumenti mu butongole, nti era yali agenda kulwanyisa abagivuganya kubanga nabo yali amaze okubazuula nti baali tebalina gye batwala Ggwanga mu maaso.
Ono era yalabibwako mu katambi akamu nga asaba Pulezidenti Museveni emmotoka ennene, gye yagamba nti ajja kugikozesa nga eky’okwogerako kubanga yali mwavu mu kiseera ekyo.
Kigambibwa nti Basajja Mivule ensimbi ne mmotoka byonna bye yasaba byamuweebwa nga akati omulimu gwasinga okukola kwe kwogerera Gavumenti ya NRM ebirungi ne byekoze emyaka 35 gye maze mu buyinza.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com