Poliisi ezzemu nate okulya amatereke ne Gen. Henry Tumukunde bwe mulemesezza okusisinkana abawagizi be mu kibuga kye Masindi.
Tumukunde okunoonya akalulu olwaleero yakutandiikidde mu disitulikiti eye Buliisa era nga ono obwedda agenda ayimirira mu buli katundu wasanga abantu n’ayogerako gye bali saako okuzannya nabo emizanyo egitali gimu omuli n’omweeso gwe yazanyidde ku kyalo Kanyege mu gombolola ye Budongo mu disitulikiti eye Masindi.
Wabula Tumukunde bwatuse Masindi eno asanze poliisi eyungudde basajja bayo abawanvu n’abampi era nga ne wankubadde abantu balaze nti baagala okuwulira ebigambo byabadde abaletedde, poliisi temuganyizza n’emuwaliriza okukifuluma nga ayolekera kiryandongo.
Tumukudde yennyamidde olw’enkola ya Poliisi gyagambye nti ssi yabugunjufu n’akamu, nti kubanga ensi yonna emanyi nti mu Uganda waliyo okulonda nga bwe kityo ab’esimbyewo balina okunoonya obululu, nti naye kimwewunyisa abakulira Poliisi okumulemesa buli wadda.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com