AKULIRA akakiiko ke by’okulonda Omulamuzi Simon Byabakama alabudde ab’esimbyewo ku bwa Pulezidenti bonna, nti singa banalemwa okugoberera amateeka g’ebyobulamu nga bwe gaalambikibwa wakati mu kunoonya akalulu tagenda kulonza lonza wakubasazaamu.
Byabakama ategezezza mu kiwandiiko kyafulumizza ku nsonga eziriwo mu Ggwanga nti abadde agoberera amawulire nga alaba abamu ku beesimbyewo bakunga enkuyanja ya bantu okubagoberera, nagamba nti bano olumu beerabira nti waliwo amateeka ge balina okugoberera nga bakuba enkungaana agakwata ku by’obulamu nga baziyiza ekirwadde kya COVID 19.
Agambye nti nga 9th omwezi guno etteeka elikkiriza enkungaana lyayongerwako abantu ne bawerera ddala 200, nti kyokka abamu ku beesimbyewo balabibwaa nga bakunganyizza abantu abasoba mu mitwalo, kyagamba nti kikyamu nnyo.
“Ab’esimbyewo mwenna mulina okufaayo ku bulamu bwa abantu saako n’obwammwe bwe nnyini, musobole okumalako kkampeyini zonna nga muli balamu” Byabakama bwagambye.
Ku nsonga ya Hon Robert Kyagulanyi Sentamu eyakwatiddwa naggalirwa e Nalufeenya, Byabakama agambye nti ensonga eno bagigoberera, era nagamba nti bawulidde nti waliwo ne banne abalala ab’esimbyewo abaasazizaamu kkampeyini zaabwe olw’okukwata munaabwe, nagamba nti bano nabo balina okutwalayo okwemulugunya kwabwe mu kakiiko saako n’okulambika enkyukakyuka mu bifo mwe bagenda okubeera okusobozesa akakiiko okutambulira awamu nabo.
Asabye abantu bonna okubeera abakkakkamu, nagamba nti ensonga y’omukulembeze wa NUP eyakwatiddwa bagiriko nnyo nga akakiiko era bakolaganira wamu n’abebyokwerinda okulaba nga eterezebwa.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com