OMUKULEMBEZE we kibiina kya Nationala Unity Platform NUP Robert Kyagulanyi Sentamu asabye abantu mu kitundu kye Teeso okumulonda asobole okukomyawo ekifananyi kya Katonda mu kitundu kyabwe nga ayita mu kuzimba amasinzizo agatuukana n’omutindo.
Kyagulanyi okwogera bino abadde mu ekelezia ye Madera mu kibuga kye Soroti, mu kusaba kwe yayitiddwamu abakulira ekifo kino okumusabira asobole okutwala e ntebbe esinga obunene mu Ggwanga.
Agambye nti ye n’abennyumba ye batya nnyo Katonda, nga ye mbeera lwaki buli kadde bafukamira ne bamusinza okusinziira ku ebyo byabakoledde ate mu kaseera akatono.
“Bwe mbadde neetoloola ekitundu kino nkizudde nti amasinzizo mu kitundu kyammwe kino ssi gamulembe, naye bwe munankwasa Entebbe ennene nja kukola ekisoboka okulaba nga nzimba ennyumba za Katonda okutuukana n’omutindo.
Emisolo abantu baffe bawa mingi ddala, nga wano tulina okulaba butya bwe tuddizaako ediini okusobola okutambuza emirimu gy’okulyowa emyoyo” Kyagulanyi bwagambye.
Ono abadde awerekeddwako mukyalawe Barbie Itungo Kyagulanyi saako ne Ssabawandiisi we kibiina kya NUP Luis Rubongoya ne bannakibiina abalala.
SAbantu mu Teeso bamulaze essanyu era ne basuubiza okumulonda.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com