ANNET Nassali 33, Namwandu wa Aklam Musajja eyattibwa abaselikale abalwanyisa envuba embi ku kyalo Kikolongo e Kasese mu mwaka gwa 2017 alajanidde omukulembeze we Ggwanga Yoweri Kaguta Museveni amuyambe asobole okujjayo e mmotoka ya bba mwe baamuttira evundira mu nkambi ya maggye e Kasajjagirwa mu Masaka.
Emmotoka eno eyekika kya TOYOTA NOAH nnamba UAU 018J mu kiseera kino eri mu nkambi ya maggye e Kasajjagirwa, abalwanyisa envuba embi gye baagiteeka emyaka 3 emabega nga kati emezeemu n’omuddo.
Nassali omutuuze ku kyalo Kigamba ekisangibwa e Kasajjagirwa mu kibuga kye Masaka bwakulojjera ennaku gyayitamu mu kiseera kino ennaku teyinza kulema kukukwata.
Agamba nti mu mwaka gwa 2017 eyali omwami we nga mu kiseera kino mugenzi Aklam Musajja yateegebwa abasilikale be Ggye lya UPDF abakola ku kulwanyisa envuba embi era ne bamukuba amasasi agamujja mu bulamu bwe Nsi naaziikibwa mu bitundu bye Bushenyi.
Ono gwe twasanze ku kyalo Kyaluubu ekisangibwa mu Division ye Kimaanya Kyabakuza mu Kabonera Masaka, gye yabadde agenze okulimira abantu olubimbi asobole okufuna emmere gyaliisa abaana , yatottodde embeera mwayita ennaku zino wamu n’abaana 8 eyali omwami we be yamulekera nga ekaabya.
Agamba nti okuva omwami bwe yattibwa embeera yaabwe yakyuka era nga bwe bafuna ekyemisana kizibu okufuna ekyeggulo, olw’okuba eyali abayiyiza yavaawo.
Ekisinga okuluma Nassali kwe kuba nti ne mmotoka ya Bba amaaggye gaagilemera songa yandimuyambye ye nabaana okufuna eky’okulya saako n’okusoma.
“Embeera bakulu abazze okundaba gye ndimu nzibu nnyo kubanga okuva omwami wange bwe yattibwa mu bukambwe nze na baana bange tubonabona, eky’okulya kizibu nnyo okufuna era bwe mba silimidde bantu tetufuna kasente katuyamba.
Nagezaako okwegayirira abasilikale banzirize emmotoka y’omwami wange, kyokka nayo baagilemera nga kati eri eyo mu nkambi yaabwe evunda ekintu ekinyongera ennaku.
Waliwo abamu ku bakulu mu maggye abaali basazeewo okunyamba, era ne bansaba ne biwandiiko ebikwata ku mmotoka ne mbitwala kyokka bantegeeza nti nnindemu emyezi 2 nga kati okuva mu mwezi gw’okusatu omwaka guno siddangamu kubawuliza.
Ngezezzaako okutuukirira omukulu avunanyizibwa ku bikwekweto mu Ggwanga lyonna Afande James Nuwagaba naye yannema okutuukako olw’abasilikale banne okunemesa nga bagamba nti bbo ensonga nzibalekere bazikoleko.
Kati njagala Pulezidenti Museveni ensoga z’okunziriza emmotoka ya baana bange agiyingiremu kubanga omwami wange yali muwagizi we era nga yali amunoonyeza nakalulu mu bitundu bye Masaka ne miriraano tewali atakimanyi” Nassali bwe yagambye.
Amyuka omwogezi wa maggye ge Ggwanga Lt.Col. Deo Akiiki bwe yatuukiriddwa ku nsonga zino yagambye nti akyalina abakulu baalina okwogera nabo alyoke atuddemu, kyokka naasuubiza okuyamba Nassali.
Okwogerako n’akulira ebikwekweto ebilwanyisa envuba embi Afande James Nuwagaba kwagudde butaka, oluvanyuma lw’okumukubira ku ssimu ze ezimanyiddwa nga tazikwata.
Omusango guno guli ku Fayiro nnamba CRB no 161/2017 ku Poliisi ye Kabatooro Kasese.
[7:52 am, 03/11/2020] lwakataaka: Ref no of the murder file of aklam musajja
[7:53 am, 03/11/2020] lwakataaka: Eri katwe ,kabatoolo,,kaseese CRB no 161/2017
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com