OMUKULEMBEZE we Ggwanga Uganda akyali mu buyinza Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni azzeemu okukakasibwa akakiiko ke by’okulonda okukwatira ekibiina kya NRM bendera mu kulonda kwa 2021.
Bwabadde atuuka e Kyambogo Museveni awerekeddwako kabiite we Janet Kataha Museveni, Omumyukawe Edward Kiwanuka Sekandi, Ssabaminisita Dr. Ruhakan Rugunda abakulembeze ab’okuntikko mu kibiina kya NRM nabalala.
Asoose kuwaayo biwandiiko bya buyigirize eri akulira akakiiko ke by’okulonda Omulamuzi Simon Byabakama, saako ne nsimbi obukadde 20 ez’okwewandiisa nga bwe kyasalwawo akakiiko ke by’okulonda.
“Ab’emikwano nangirira Yoweri Museveni Tibuhaburwa Kaguta nga atuukirizza byonna eby’etaagisa okuvuganya ku bwa Pulezidenti we Ggwanga Uganda” Omulamuzi Simon Byabakama bwagambye.
Ono asembeddwa Nassur Gadaffi ne Hellen Sseku.
Oluvanyuma lw’okumala okwewandiisa Museveni ayogeddeko eri bannamawulire nategeeza nti mwetegefu okuddamu okutwala Uganda mu maaso, era nagamba nti agenda kwongera okukuuma emirembe egyaleetebwa Gavumenti ya NRM eri mu buyinza gyakulembera.
Agambye nti tajja kukkiriza muntu yenna anazanyira ku mirembe bannaUganda gye beeyagaliramu, nawera okuttunka naabo bonna abaagala okutabangula emiremb
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com