SEMATEEKA we Ggwanga akatundu 126 akkiriza bulungi omuntu azizza omusango okwetonda saako n’okuteekawo embeera y’okutegeragana naabo baaba azizzaako omusango, kiyambeko ku ssiga eddamuzi obutamala budde bungi nga banoonyereza kubanga baba ne misango mingi egy’okutambuza.
Wano ekitongole ekilamuzi kyateekawa enkola munda mukyo amanyiddwa nga PLEA-BAGAIN nga wano omuntu aba azizza omusango asalawo kyeyagalire nga tawaliriziddwa nakkiriza nti omusango yaguzza era nasaba ekisonyiwo okuva ew’omulamuzi aba ali omusango amukendereze ku kibonerezo, oba okumuta kubanga aba yenenyezza olw’okuzza omusango ogwo.
Mathew Kanyamunyu muganzi we Cynthia Munwangari ne muganda we Joseph Kanyamunyu bavunanibwa omusango gw’okutta Keneth Akena, nga omusango guno baaguzza emyaka 3 emabega era ne bateebwa ku kakalu ka kkooti.
Okuva olwo omusango guno guzze guwozesebwa mu kkooti enkulu, okutuusa omu ku bavunanibwa Mathew Kanyamunyu bwe yasalawo okuyita mu mateeka agafuga e Ggwanga Uganda nakkiriza omusango guno nga bwe yaguzza.
Yakwata ekkubo nayolekera ebitundi bya Acholi Akena gyazaalibwa, era nabaako entesaganya zakola n’aboluganda lw’omugenzi saako n’abataka ku kitundu, wakati mu nteseganya Kanyamunyu yalagirwa okukola emikolo Egy’okutabagana saako n’okwetonda mu buwangwa bwa Bachooli egimanyiddwanga MATOPUTI era nasonyiyibwa mu butongole nga kino kyakolebwa mu lujjudde lwa bantu saako n’abataka b’omukitundu.
Kino kyakolebwa kubanga kikkirizibwa mu mateeka agafuga e Ggwanga Uganda nga emu ku ntekateeka z’okumalawo obukuubagano wakati wa Famire ya Akena ne ya Kanyamunyu.
Ekyo bwe kyaggwa Kanyamunyu yasalawo addeyo mu kkooti ategeeze abawaabi be misango gya Gavumenti saako n’abalamuzi abali mu musango gwe ebyali bituukiddwako ewakati we ne Famire ya Akena.
Era yalina okutwala mu maaso enkola ya PLEA- BARGAIN akenderezebwe ku kibonerezo mu ngeri y’okukwatirwa ekisa abakulu mu kitongole ekilamuzi.
Wabula kino kilabika nga kiyinza obutasoboka kubanga omuwaabi we misango gya Gavumenti mu kkooti enkulu mu Kampala amanyiddwanga Jonathan Muwaganya alabika nga takkiriziganya nakyo oluvanyuma lwa maloboozi agakanga kanga Kanyamunyu okufulumizibwa ku mikutu emigatta bantu nga awera okumusiba emyaka egisoba mu 25, nga tagoberedde nkola ya Plea-Bargain.
Akatambi era kalaga nti Kanyamunyu alina okugenda mu mbuzzi ekogga kakibe ki kubanga omukulu Muwaganya ono alabika nga mumalirivu nnyo obutagoberera nkola ya PLEA-BARGAIN eyateekebwawo Gavumenti mu mateeka ge kilamuzi.
Okusinziira ku bino kyandiba nga kijja kuba kizibu Omuwawabirwa okufuna obwenkanya kubanga omuwaabi ali mu katambi alabika alimu kyekubiira bwe banagenda mu maaso g’omulamuzi Steven Mubiru ku lw’okubiri lwa wiiki eno.
Kati abantu abenjawulo batandise okwebuuza nti lwaki ekitongole ekilamuzi kyagala okugaana okuwuliriza n’okusala mu bwenkanya omusango gwa Kanyamunyu balyoke bamusindike mu mbuzi ekogga avundire eyo.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com