Ku Lwomukaaga nga October 17, ab’Ekika ky’Embogo bategese omukolo ku butaka bwabwe e Mugulu mu Ssingo ogw’okusaba nga beebaza Katonda olw’okusobozesa Omutaka Kayiira, Omukulu ow’Akasolya mu kika kino okuwereeza Ssaabasajja Kabaka ng’Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka okumala emyaka mukaaga era omukolo baaguteseseese nga bagoberera ebiragiro by’abasawo olw’embeera gyetulimu eya Ssenyiga Kolona. Baaguteseteese nga balina obukokoolo, nga banaaba mu ngalo era nga balina obulagala obutta obuwuka era nga batudde beewa amabanga. Era emikolo mingi ennaku zino bwegitegekebwa.
Naye ab’ebyokwerinda batuuse ku butaka neebasasaanya ababaddewo ne bakuba n’omukka ogubalagala nnewankubadde ng’Omusumba John Baptist Kaggwa ow’e Masaka eyawummula yasobodde okusoma emissa naye ebyabaddewo byonna byabadde bya bunkenke.
Obwakabaka bwa Buganda bwennyamivu nnyo olw’ebikolwa ebirabika nga bityoboola obuwangwa n’ennono. Ab’Embogo bangi era bagwa mu biti eby’enjawulo era bayina endowooza z’eby’obufuzi zanjawulo, basoma eddiini zanjawulo naye bonna ba Mbogo.
N’olwekyo, omukolo bwegubeera ku butaka, kifanaanako abantu bwebagenda mu massinzizo kubanga Emizigiti oba Ekkanisa ziyingibwamu abantu abamawanga ag’enjawulo n’eby’obufuzi eby’enjawulo. Ku butaka, buli wakika ekyo agendayo n’olwekyo tuvumirira nnyo ekikolwa eky’okutyobola ennono n’obuwangwa ebyayoleseddwa e Mugulu ku butaka bw’Ekika ky’Embogo okukuba omukka ogubalagala n’okulemesa abamu ku bataka abakulu mu Kika okutuuka ku butaka okubeera ne jjajjabwe.
Tusaba abakwatibwako ensonga eno bazikwate n’obwengendereza era tusubiira nti ebikolwa eby’engeri ng’eno tebiddeyo kubeerayo naddala ebikolwa ebityoboola obuwangwa n’ennono.
Charles Peter Mayiga
Katikkiro
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com