OKUBBINKANIRA ekifo ky’omubaka mu lukiiko lwe Ggwanga akiikirira ekitundu kya Mukono South kweyongeddemu ebbugumu, bwe wafubutuseeyo abasajja abamaanyi 4 okuvuganya ku kifo kino mu kulonda okugenda okubaawo mu mwezi gw’okubiri omwaga gwa 2021.
Tukukubidde tooki mu bantu bano era mu bufunze be bano ne bibakwatako;
Omubaka aliyo kato Johnson Muyanja Senyonga ono amazeeyo kati emyaka 5 be ddu, wabula nga tanagenda kukiikirira kitundu kino yasooka kuba Meeya wa kibuga kye Mukono okumala emyaka 20, nga kino kitegeeza nti alina obumanyirivu mu by’obufuzi.
Ono mutuuze ku kyalo Kisoga B mu town Council ya Ntenjeru Kisoga era nga mufumbo n’abaana abawerako, ono era mukulisitaayo omujjuvu.
Ono yakulira akabondo ka babaka ba Buganda mu Palimenti yadde nga gye buvuddeko ababaka naddala eb’ekibiina kya NRM baasalawo okwabuluzaamu akabondo kano ne balonda Omubaka James Kakooza okubakulembera naye Muyanja yasigala ye Ssentebe waako ali mu mateeka.
Ye nannyini massomero ga St Johns agasangibwa ku kyalo Namuyenje mu gombolola ye Nakisunga.
MunnaDP FRED KAYONDO
Fred Kayondo azaalibwa ku kyalo Namaiba mu gombolola ye Nakisunga era nga musajja mutabuzi wa ddagala omutendeke, akkiririza nnyo mu kibiina kya Democratic Party.
Amakaage agasooka gali Namaiba wabula nga yasalawo nazimba amalala ku kyalo Nsanja ekisangibwa mu Town Council ye Katosi, mukatoliki awedde emirimu era musajja mwogezi nnyo aterya ntama.
Agamba nti okusoma kwe kwonna okuva mu buto kwali kwe Mukono South, era nga gye yakulira ekimuwa enkizo okumanya ebizibu by’abantu baayo okusinga banne abalala.
Ono yavuganyako ku kifo kino mu kulonda okwaggwa era naakwata ekifo 3, nga okuva olwo abadde tavanga gyayita mu kyalo mu kawefube wokunoonya obuwanguzi ku kifo kino.
Wilson Male munnaNUP
Wilson Male muvubuka mbulakalevu omutuuze ku kyalo Lubugumu ekisangibwa mu Gombolola ye Nakisunga, Male musajja mumalirivu nnyo era bwaba ayogera alaga obukugu bwalina okusobola okutambuza ekifo kino bwaba akifunye.
Musajja munnabyanfuna bye yakugukira mu Ttendekero ekkulu erye Rwanda, era nga musuubuzi wa byannyanja omukukuutivu.
Male amanyiddwa nnyo mu kulwanirira abavubi n’omulimu gw’okuvuba era nga musajja mwadiventi nnyo mu kkanisa ye kyetume.
Ono agamba nti yasomera mu massomero ga bamufuna mpola e Mukono South, naye ekimuwa enkizo okutegeera ebizibu bya bantu beeno nga kwotadde n’abavubuka.
Eng. Andrew Lule Independent.
Yinginiya Andrew Lule musajja muyivu era nga yakuguka mu kukanika emmotoka nga akozesa ebyuma bi kali magezi mu Ttendekero e Kyambogo.
Ono mutuuze ku kyalo Nangwa ekisangibwa mu Nakisunga era nga eno yeeri n’aboluganda lwe, Lule kati musajja musuubuzi wa mu Kampala era nga yenyumiriza nnyo mu kitundu kye Mukono South, ono abatuuze bamuwaako obujulizi nti yeyaleeta amasanyalaze ku kyalo Nagwa, saako n’amazzi okugabunya ekyalo.
Azze nga talina kibiina kyonna, kyagamba nti takkiririza mu kwawulayawula mu bantu, ayagala abantu beeno okubeera obumu.
Mwagazi wa nkulakulana era abavubuka mu kitundu kino bamufunyemu nnyo, olw’okubatandikirawo emirimu egibagasiza awamu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com