EMBEERA ye by’obufuzi mu kitundu kye Bukoto central mu Masaka etuuse wenyumira kubanga okuva lwe baatemako essaza lino ne lisigaza amagombola 2 gokka okuli Kyesiiga ne Kyanamukaaka, okuvuganya mu beesimbyewo kweyongeddemu amaanyi.
Ekitundu kino kati kyasigaza emiruka 9 saako ne byalo 105, era nga okuvuganya okwamanyi kuli wakati w’omumyuka wa Pulezidenti Edward Kiwanuka Sekandi owa NRM ne munnaDP Eng. Richard Sebamala.
Abantu mu kitundu kino abasinga omulimu gwabwe omukulu kulima, era nga buli wooyita osanga obugaali obutwala amatooke mu butale saako ne mmwanyi mu mpya ezisinga obungi.
Omumyuka wa Pulezidenti Sekandi ye mubaka we kitundu kino, nga ekifo akimazeemu emyaka egisoba mu 25, era nga kimuwaniridde okuva nga mubaka okudda ku bukubiriza bw’olukiiko lwe Ggwanga olukulu saako n’obumyuka bw’omukulembeze we Ggwanga kwali mu kiseera kino.
Eng. Richard Sebamala muvubuka muto era nga munnaDP kakongoliro wabula nga ekisinga okwewunyisa nti ono awagirwa nnyo bannaNRM mu kitundu kino abalowooza nti oba oli awo obukulembeze bwalikyuseeko ne budda mu mikono emilala.
Sebamala ava mu Gombolola ye Kyanamukaaka eno gyalina Farm saako ne bintu ebilala ate nga ne Sekandi gyazaalibwa eky’ongera okuletawo okuvuganya okwamaanyi okuva ku njuyi zombiriri.
Ono era abasinga bamuyita mununuzi waabwe kubanga akoze ebimu ku bintu ebibadde bitalabwangako mu kitundu kyabwe okuli okuzimba amakkanisa, okuteeka ensimbi mu bibiina bya bakyala, okusima nayikonto, okutandikirawo abavubuka emirimu ne bilala, nga bino bye bimu ku bimuwa amaanyi.
Abamu ku bannaNRM mu kitundu kino bwobabuuza lwaki bawagira owa DP Sebamala awatali kwesalamu baddamu nti “Tuleke Museveni tujja kumulonda naye omumyukawe nedda” nga beesigama ku kuba nti Sekandi abajjukira obudde buweddeyo oba mu biseera bya kalulu.
Kyokka nga yadde Sekandi abadde nga avudde mu bantu naye atandise okufunamu ku mbavu, kubanga gye buvuddeko yaleeta muto wa Pulezidenti Gen. Salim Saleh nasuubiza abantu naddala abavubuka okubafunira emirimu, nga kwotadde okubaako ebintu byagaba ennaku zino mu bibiina bya bavubuka.
Sebamala agamba nti teri kigenda kumuziyiza kuwangula kifo kino yadde nga abantu bangi babadde balaba nga nti okuva bwe kyasalwako ebitundu ebilala ne kisigala kitono nti oba oli awo kiyinza okuleetawo omuwatwa okusobozesa munne bwe bavuganya okweddiza entebbe kyagamba nti tekisoboka.
“Abantu be Bukoto Central baagala nkulakulana na kubateeseza sso ssi bitiibwa era ewaffe abantu tebalowooza nnyo ku bibiina byabufuzi wesanga nga abalonda Pulezidenti Museveni ate nange bansabira akalulu ogutali musango” Sebamala bwe yagambye.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com