BYA BRIAN MUGENYI
Erinnya: Henry Ssekabembe
Emyaka: 50
Byakola: Yakulira ekitongole kyebyemizannyo e Mengo atenga era musubuzi.
Gyeyasomera: Kitende, Ndejje ne Makerere Business Institute
Abazadde: Christopher Kiberu Kigongo ne Costa Miriam Nantongo Kiberu
Kkiraabu kwafiira: Manchester United ne Express
Ebyamwagaza Man U: David Beckham
Ebyamwagaza Express: George Ssemwogerere
Henry Ssekabembe musajja munabyamizannyo era omugundivu ennyo nadala
mu Buganda.
Simupiira, kuwuga oba okuzannya omweeso, Ssekabembe wonna
agwaawo. Bwotuuka e Mengo, muyaffeesi yebyemizannyo mwasangibwa ebifanannyi byakabaka Ronald Mutebi byebikwaniriza. Wano,
yakamalawo emyaaka wajindaba musanvu oluvannyuma lwokusikira Herbert
Ssemakula eyali atwaala ekitongole kyebyemizannyo mu 2014.
Ng’omuntuntu yenna eyakuzibwa era nabangulwa bulungi, Ssekabembe musajja mwaniriza.
Agamba nti ebyemizannyo byafuuka kitundu kubulamu bwe bukya Kabaka Mutebi amuwa obwaami. Mubyo,
mwagya eddembe eranga abifunyeemu nnyo nadala bwekituuka mukola
emikwano. Akoledde abavubuka era agezezaako okuzaawo obumu mu bavubuka ba Buganda.
Ssekabembe wano kubutaka awagira Express kyokka nga bwosalinkiriza
newemulula mpaka mubakyeerupe muwagizi nnyo wa Manchester United.
Anyumya nti ebyemizannyo teyatandikira kubyagalira Mengo nga banji bwebageresa nadala ngabamulaba mipiira gy’Amasaza.
Oluberyeberye obwagazi bwatandikira ku ttiimu ya Manchester United
eranga eno yegomba nga nnyo mwana mulenzi David ‘Joseph’ Beckham
mukaseera kano eyagunyuka.
Awaka, Ssekabembe teyafunanga nnyo mukisa kulabirawo mupiira. Kyokka,
olwenyonta gyeyalina enyingi ennyo bwekyatuuka nga mukulaba Beckham
nga azannya yawalirizibwa nga okuva awaka nagenda mubibanda okusobola
okulaba omuzanyi we.
Awo e Kitende, Ssekabembe weyakasibanga nebavubuka banne eranga
okumugamba nga nti waliwo akuyita wabweeru nadala nga omupiira
guzannyibwa Ssekabembe yajulanga okujamu omumiro.
Beckham buli weyatandika nga omupiira, olwo nga ye Ssekabembe omutima
gwe gweyongera kumubeera wamu nga eyeyokeza enkejje.
Agamba nti omutendesi Alex Ferguson eyegatta ku kkiraabu eno mu 1986
teyamukola bubi yadde. Ebanga lyonna elyemyaaka 26 lyeyabawereza nga
omutendesi wa Manchester United ebikopo babiwangula.
Bwekyatuuka nga mukuyungula abazannyi ekumi noomu abanatandiika,
kyabanga kizibu nnyo obutasangamu linya lya Beckham.
Mukisaawe, awaka awamu nemukwogerako eri abalala, Ssekabembe agamba
nti Beckham yabeera nga mukakamu nga akatiko. Kyokka, nga baserebu bwebabeera
emirundi ejimu Beckham yavanga mumbeera ekyamuviirako nobutasimatuka
ngato mukama we Ferguson gyeyamukuba.
Kinajjukibwa nti Beckham, 44, nga mukaseera kano asangibwa Beverly
Hills, wali mu America, omupiira yagutandikira mu Ridgersway Rover
kyokka nga Manchester United yagyegatako mubutongole mu 1992 nga
aweeza emyaaka 17.
Wansi womutendesi, Ferguson, Beckham yakyaaka nnyo era yali atunda
okukira akawala akanyirivu atenga kekapya koka kukyaalo. Omukulu ono,
yabeera nga musaale nnyo bwekyaatuuka nga mukusimula ekisobyo awamu
nemukunyweesa ppeneti.
Bweyatukira okuvaawo mu 2003 oluvannyuma lwokugwa mu ddiiru ensaava mu
kkiraabu ya Real Madrid, Beckham yali abazannyidde emipiira 265
kwoteeka nokubatebeera ggoolo 62.
Ssekabembe agamba nti Beckham bweyegata ku Madrid kyamuyisaamu bubi
wadde nga omuzannyi oba omutendesi okumala akaseera akawanvu ku ttiimu
oluusi tekibeera kirungi.
Kukino annyonyola nti ensonga lwaaki Manchester United ekyalemereddwa
okudayo kuntiko gyeyali nadala muwangula ebikopo, kyaava kubakulembeze
battiimu eno obutalengerera wala musika wa Ferguson.
Kyokka olwokuba nti omutendesi aliwo ensangi zino Ole Gunnar Solskjaer
akulidde mulanji za Manchester United, Ssekabembe mumativu nti
kkiraabu ye yakudamu okulinyisa omutindo.
Agamba nti musaayi muto Macus Rashford ensangi zino amwagala nnyo
kuttiimu eno. Buli lwakalabako nga kazannya kalina ebintu binji
byekamujukikiza nadala obumalirivu awamu nobuyiiya Beckham bweyalina
ebiro biri.
Rashford, 21, omupiira kumpi agutandikidde mu kkiraabu ya Manchester
United eranga yakabatebeera ggoolo 27. Omuvubuka ono, y’omu
kubamusaayi muto Solskjaer basibiddeko olukoba okulaba nga akomyaawo
Manchester United mukisaawe kyabawanguzi be bikopo mubulaaya.
Ssekabembe agamba nti ebintu omuvubuka ono byakola mukisaawe
bimwewunyisa eranga nebatabani be awaka bamumatira nnyo.
Bwooba omukomezaawo wano kubutaka, ensonga eyamwagaza Express ‘Mukwano
Gwabanji’ yali muzannyi George Ssemwogerere nti yamulabanga nnyo
nadala e Kitende nga bazannya oluusi nabatuuze kukasaawe kekyaalo.
Mubalala, Ssekabembe yanyumirwa nga nnyo enzannya ya George
Ssemwogerere ne Ronny Vubya bagamba nti nabo balina ekitone
ekyomuwendo.
Ssekabembe agamba nti yalinanga nentebe ye emanyikiddwa mukisaawe e
Wankulukuku eranga ye okusubwa omupiira nadala mbiseera ebyo kyabeera
nga kizibu mpozi nga mulwadde.
Agamba nti awo mu 1980 akapiira bakoota nga buliro ne Katikiro Peter
Mayiga bweyali akyalimuvubuka mbula kalevu
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com