Abatuuze mu kitundu kya Kawempe North mu Kampala bakombye kw’elima ne bawera obutaddamu kukombya kalulu kaabwe ku Mubaka wabwe mu kiseera kino Latif Sebaggala gwe bagamba nti ono asussizza katemba we by’obufuzi saako n’okubuukira ebifo buli kadde.
Bano bagamba nti wakiri ka balonde Muhamad Segiriinya kubanga ebbanga lyonna abadde asaba ekifo kino era nga yesimba nawo kko nawangulwa emya 10 emabega.
Abatuuze okutabuka kidiridde Omubaka Latif okusoka okulangirira nti tagenda kudda kuvuganya mu kifo ekyo emyaka 2 emabega, era nategeeza nti yali agenda kuvuganya mu kifo kya bwa Loodi Meeya wa Kampala, ekyabajja enviiri ku mutwe nga wakayita emyezi 6 gyokka Latif yakomawo nabategeeza nti ekifo ky’obwaLoodi Meeya yali akitadde nga akomyewo e Kawempe.
Kino tekyamumalira ate ne yeyunga ku kisinde kya People Power ate naddamu okwerangirira nti ayagala kifo kya buloodi bwa Kibuga era ne yesimbawo ne Yoseph Mayanja CHAMELEON nakiwangulira waggulu, ekyaleetawo abamu ku bawagizi be e Kawempe okufuna ku ssanyu nti oba oli awo nabo bagenda kudda mu kintu.
Bino tebyamala yadde ennaku 3 ate navaayo nategeeza nti ekifo yali akitadde era ne kaadi aba NUP gye baali baamuwa nagibasuulira nategeeza nga bwe yali agenda okukiikirira Uganda mu lukiiko lwa East Africa ekyayongera okutabula abantu be Kawempe.
Olunaku lwa mmande baabadde bakyali awo ate Latif yoomu nayita bannamawulire ne yekyusiza mu kiti nga embazzi nategeeza nga bwakomyewo e Kawempe North ekyalese abantu beeno nga batakula mitwe nga ndiga etenda enkuba.
Abatuuze abasinga amawulire gano bwe gaabagudde mu matu ne beekyawa ne balangira Latif obunanfuusi n’okweyagaliza ekisukkiridde, era ne basalawo okuwagira Segiriinya owa NUP nti kubanga ababeereddewo mu bubi ne mu bulungi.
Abalala baategezezza nti ono talina kyamaanyi kyakoze mu kisanja kino okujjako katemba gwe bagamba nti kuluno tebagenda kubikkiriza.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com