EBY’OBUFUZI mu kibuga kye masaka bili mu ggiya ya maanyi nnyo oluvanyuma lwa bantu ab’enjawulo okwesowolayo okuvuganya ku kifo ky’obwa Meeya bwe kibuga kino.
Masaka kyafuulibwa ekibuga ekijjuvu omwaka oguwedde oluvanyuma lwa Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi okukyalayo era najjukiza Gavumenti eyawakati nti Masaka kibuga kyabyafaayo nnyo era kitegeke bulungi nga mu mbeera eyo kyalina okugattibwa ku ebyo ebyali ebyali biwereddwayo mu kiseera ekyo.
Oluvanyuma Minisita wa Gavumenti ez’ebitundu Tom Butime yalangirira nti kifuukidde ddala kibuga, era essanyu lyabugaana abaana enzaalwa saako n’abakolerayo emirimu.
Okuva olwo abantu ab’enjawulo bangi bavuddeyo okuvuganya ku bukulembeze bwe kibuga kino era olw’aleero tukuletedde musajja mukulu Emmanuel Lwasa Kaweesi omwana enzaalwa eye Kyabakuza, nga ono yoomu ku baagala okufuuka Omuloodi we kibuga Masaka.
Mu kusooka Lwasa bannaNRM bagaana okumuwandiisa nga beesigamye ku mbeera nti teyalina bisanyizo bya buyigirize ebituukana ne kifo kino nga amateeka bwe gagamba, kyokka ebigambo byabakalira ku matama ate akakiiko ke by’okulonda bwe kamuwandiisa era nga kati avuganya mu bujjuvu.
Lwasa agamba nti zino nnugu za bannabyabufuzi be Masaka naddala abo abatali baana nzaalwa ya mu kitundu, baagamba nti bano tebayinza kumuziyiza kujja kwesimbawo nga omuntu (INDEPENDENT) atwale Masaka mu maaso.
Ono gwe twasanze mu makaage agasangibwa ku kyalo Kyabakuza mu Masaka twanyumizzamu naye bwe tuti;
Amannya gange nze Lwasa Emmanuel Kaweesi oyinza okunyongerako erya (KOREA) nga lino lyampeebwa abajaasi bannange bwe twali mu nsiko mu kawefube w’okuleeta Gavumenti ya NRM mu buyinza saako n’okwetakkuluzaako abasibira mu bbwa abaali bamamidde Uganda saako n’okutta abantu abatalina musango.
Nzalibwa ku kyabakuza kuno era kitange ye mugenzi Yoseph Kaweesi, ne maama omugenzi Angella Kigona Kaweesi.
![](https://www.watchdoguganda.com/wp-content/uploads/2020/10/lwasa3.jpg)
Mu kiseera kino mpeza egy’obukulu 59, era nga ndi mwami mufumbo ne mukyala wange Faith Lwasa.
Natandika okusoma mu mwaka gwa gwa 1980 era mba ntuuka mu p.3 nga nina emyaka 9 olutalo ne lutandika e Masaka wano buli muntu yakwatanga gage era mu kusoberwa neegatta ku Ggye lya NRA nga omu ku ba kadoogo ne twesogga ensiko.
Twalwana okutuusa mu mwaka gwa 1986 nga Gavumenti ewambye era ffenna abaali abaana bato omuduumizi ow’okuntikko Yoweri Kaguta Museveni naalagira batuzze mu ssomero tusome.
Wano twatwalibwa mu ssomero lya Kadoogo School p/s e Mbarara mu balakisi era omukulu we ssomero eryo ekiseera ekyo yali Amanya Mushega.
Lwasa alojja olutalo mu mabuka ge Ggwanga
Yadde nga Gavumenti yali etuuse e Kampala nga ne mirimu egikola kyokka waaliwo entalo ezaali zitannaggwa naddala mu mambuka.
Wano era twalagitrwa okuddayo okulwana era awo erinnya KOREA we lyasinga okutinta kubanga nali kasajja kampi akalina olususu olweru naye nga ndi mulwanyi nnyo yadde nga nali muto, bwe twatuuka e Kiryandongo nafuna obuzibu bwe nakubwa essasi mu kugulu kwange okwa kkono era ye nsonga lwaki ntambula mpenyera.
Okugulu nga kuwonye neeyongerayo ku Karuma ne nwanagana na Banyanya wamu ne banange nga tuduumirwa Col. Mande saako ne Brigadier Kazoora mu kibinja ekye 15, twabawangula ne tweyongerayo e Gulu, Lira ne bitundu ebilala.
![](https://www.watchdoguganda.com/wp-content/uploads/2020/10/kaweesi.jpg)
Oluvanyuma neegatta ku ggye elyali likola ebikwekweto okumalawo obuyekera bwonna era twagenda okumaliriza nga ekitundu kya mambuka kyonna tukiterezezza ne tukomezebwawo e Mbarara mu nkambi.
Wano era omukulembeze we Ggwanga yalagira batuzzeyo mu ssomero era era wano nafuna omukisa okutuula ekibiina kyange eky’omusanvu mu ssomero lya Kadoogo school e Mbarara.
Nga mmaze nasaba okwegatta ku ttendekero ely’ebyemikono nkuguke mu kukanika emmotoka, era ne ntwalibwa mu ttendekero ebiseera ebyo elyali limanyiddwa nga NRA Kireka Central Workshop era nali nkyali eyo ne nsaba okuwummula amaggye abakulu ne banzikiriza.
Nagenda mu maaso nga bwe nsoma okukanika emmotoka saako n’amazzi (Motor Vehicle Engneering and Plumbing) era mu mirimu egyo ndi mukugu nnyo.
Lwasa atandika okukola
Natandika okukola emirimu gyange era nga bwe nsoma oluvanyuma nafuna ebbaluwa yange esooka ne y’okubiri mu kukanika emmotoka n’amazzi.
Nagenda mu maaso ne nkola emirimu gyange era eky’okunoonya sente gwali mulamwa mukulu nnyo, nayongera okuyiiya era ne ntandikawo kkampuni emanyiddwanga Trans Equator Minners Uganda Limited nga eno nakati ekyakola emirimu gyayo egy’okugula n’okusuubula Gold e Mubende ne Congo nga tumutunda ebweru we Ggwanga.
Oluvanyuma natandikawo kkampuni endala emanyiddwanga Lwasa Traders Uganda Limited nga eno esuubula ebintu ebikozesebwa mu maka ebyatika, saako ne mmotoka ezikola okutambuza ebyamaguzi.
Lwaki Lwasa Yenyigidde mu by’obufuzi
Ekisooka nze eby’obugagga byange ebisinga mbitadde mu Masaka obutafananako ne bannamasaka banange abali e Kampala, nga kino nkikola olw’okubaako ettafaali lye nnyongera ku kitundu kyange e kye Masaka era nina ekigendererwa eky’okukyusa Masaka afananeko ebibuga ebilala ebiri ebweru we Ggwanga ebikulakulanye.
Nze Lwasa ntambudde mu Nsi nnyingi nnyo era ndabye ebintu bingi bye tusobolera ddala okukola e Masaka ekibuga kyaffe ne kituukana n’omutindo gwe bibuga ebilara nga tuzimbamu amakolero saako ne kisaawe kye nnyonyi okusobola okusikiriza ba musiga nsimbi.
Masaka elina ekizibu kya bakulembeze abatakolagana na Pulezidenti Museveni ne Gavumenti eri mu buyinza, kino kye kimu ku bisibye ekibuga kyaffe e mabega olw’okubulawo empuliziganya wakati wa bakulembeze abandikoledde abantu ba bulijjo.
Enguudo ennungi, amazzi amayonjo, emisolo saako ne byenjigiriza tugenda kubiteekako nnyo essira, ate ekibuga kyaffe kilinamu ne bitundu bye kyalo nga eno awatali masanyalaze tujja kulaba nga tugatwalayo saako n’okuyambako ku bibiina bya bakyala na bavubuka okusobola okwekulakulanya.
Wakati mu kulwanirira emirembe mu Ggwanga Lwasa yawebwa emidaali 2 okumusiima nga omu ku bannaUganda abato abaakola ennyo okuzza emirembe.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com