BYA BRIAN MUGENYI
Erinnya: Godfrey Kayemba
Eppaatiike: Afaayo
Emyaka: 47
Yazalibwa: Aug, 15, 1971
Abazadde: Simon Ssuuna Ssempiri ne Everylin Nakawuka
Gyeyayasomera: Sala, Main Streets, St Henrys, Masaka S.S, Kyambogo ne Makerere.
Byeyasoma: Public Administration n’amateeka.
Byakola: Munabyabufuzi
Mubiseera omuzannyi Majid Musisi weyakolera ennyo erinnya mu kkiraabu ya SC Villa, Godfrey Kayemba mukiseeera kino akola nga omulodi wekibuga Masaka owekiseera yali akyali muvubuka.
Wabula yali takyabeera nnyo nabazadde be Simon Ssuuna Ssempiri ne Everylin Nakawuka asangibibwa e Bugerere mu disiturikiti ye Luweero.
Wano ng’omuvubuka yenna, Kayemba naye yalina ebyamutwalira nga obudde mumyaaka gye egyekivubuka.
Bwekutaabanga kusoma bitalo nga bwekiri nakati ne muyaffeesi ye esangibwa kukizimbe kya Masaka Municipal Council, Kayemba yabanga kumupiira.
Omupiira yagwagala nnyo era yomu kubantu bootatumira nga mwana atenga nemubiseera bino tava mukisaawe kya Masaka Recreation.
Oba mipiira gyamasomero, liigi kejibeere gyamikwano Kayemba ajiberako.
Kayemba, mu suuti ye awamu nettaayi eyabbulaaka annyumya nti ensoga yomupiira mubulamu bwe yafuuka yakumwaajo nnyo. Ng’omuntu omupiira okuguzannya kuviira ddala mubuto bwe gwaali gwamulema awaka nemukibira. Nebweyageezaako ku Masaka S.S gyeyamalira siniya eyomukaaga byagaana.
Sirwakuba nti teyabanga nabudde bwaagwo nadala mubuvubuka bwe wabula yakizuula nti ekitone kye tekyali mukuguzannya wabula mukuguwagira.
Mubiseera Villa weyajira e Masaka mu mwaaka gwa 1991, Kayemba agamba weyatandikira okwagalira ddala ennyo omuzannyo gw’omupiira.
Wano agamba yetabanga nnyo mukyokukunga abawagizi okusobola okweyiwa mukisaawe kya Masaka Recreation buli Villa weyabanga erinayo omupiira.
Ebiseera ebyo yalina emyaaka 20. Villa yebiseera ebyo yali etwalibwa Patrick Kawooya kati omugenzi.
Kayemba annyumya nti yabeeranga nemikwano gye eranga mukisaawe kya Masaka Recreation bo balina akafo kabwe mwebatuula nga mukirasha webasaakanyiza nga nadala nga Villa eteebye.
Kayemba agamba nti okujja kwa Villa tekwakoma kumulaga muzannyi Musisi yekka wabula nga Masaka kwabayamba nemukusitula ebyenfuna.
Buli Villa lweyabanga ezannya, bizinensi nnyingi gamba nga; looji, amadduuka, neyentambula zatundanga.
Kayemba agamba nti wadde nga Villa yebiseera ebyo yali eyocha, ye okusingira ddala yagoberera nga nnyo omuzannyi Musisi.
Sirwakuba nga abazannyi abalala yali tabagala, wabula yakikola lwakuba nti omutindo gwabwe yali tayinza gwolekannya nogwo Musisi gweyayolesanga.
Mukisaawe kya Masaka Recreation, ekyazibibwa mu 1952 nekigulwaawo owekitibwa Andrew Cohen mu 1956, Kayemba weyayotereera nga omuzannyi Musisi. Agamba nti Musisi teyali muwanvu nnyo ateera teyali mumpi nnyo.
Yabanga namanyi nadala kukigere eranga bweyakwatanga omupiira kyabanga kizibu nnyo okugumujako.
Nga erinnya bweliri nti Musisi, Kayemba agamba nti omwaami ono yayugumya nga nnyo abazibizi bamatiimu amalala, Villa geyazannyanago e Masaka.
Kayemba agamba nti ekisaawe kyakwatiriranga buli Villa lweyabanga ezannya eranga abawagizi bekulumululanga okuva mubyaalo nemukibuga okujiwagira.
Mumujoozi gwaayo ogwa bbulu nga bwekiri nekati, Villa yabanga nnyuvu, abazannyi bayagalwannyo abawagizi ate nabawagizi nebatayiibwaayo bazannyi.
Olwokuba nti Villa yeyali ttiimu yokka eyaliwo e Masaka mubiseera ebyo olwensonga nti eyasookawo Masaka Union yali emaze okusanawo mu 1985, Kayemba agamba nti kyajiberera kyangu okutwaala emyooyo gyabawagizi.
Mubiseera byomupiira nga Villa enazannya, Kayemba agamba teyabanga namirembe era yafubangannyo okulaba nga wakiri amaliriza byonna byalina okola mubudde asobole okufisaawo obudde bwokulaba Villa.
Buli Musisi weyateeba nga, Kayemba agamba nti mukudayo awaka kyalinga kyangu eranga nemboozi gyebanyumya nga nemikwano gye mukudayo yabanga yatabu.
Kinajjukirwa nti Musisi yazalibwa mu 1967. Ng’omuzannyi, Musisi yegatta ku Villa mu 1985 oluvannyuma lwokuletebwa omutendesi David Otti, mubudde buno omugenzi.
Ng’omuzannyi, Musisi yabazannyira okumala kumpi emyaka kumi okutuusa weyabaviirako mu 2001 nga abatebedde omugatte gwa ggoolo 138.
Negyebuli kati Villa ekyanoonya omuzannyi ayinza okugerageranyizibwa ne Musisi naye tanalabika.
Okusinziira ku Kayemba ezimu kunsonga zatayinza kwerabira ezamwagaza ennyo omuzannyi Musisi mwemwaaliobukozi bwe, okubeera nempiisa awamu nokuteeba amaggoolo.
Kayemba agamba nti Musisi alinga eyali yatondobwa okuteeba amaggoolo kuttiimu ya Villa. Mipiira mitono nnyo Kayemba gyeyalaba Musisi natateeba.
Kayemba annyumya nti mubiseera Musisi weyakyakira ennyo kyali kyangu okumusigula gamba nga okubukira amatiimu gebali bavugannya nago obudde obwo wabula teyakikola.
Kayemba agamba nti Musisi yabeera nga mukakamu atenga era teyepankapanka nga nnyo nga abazannyi aberinnya webatera okubeera.
Masaka gakyali Maka ga Villa.
Mukiseera nga ebintu kkiirabu ye eya Villa kwaafiira wansi womutendesi Douglas Bamweyana gekaaba gekomba olwomutindo omubi gweboleseza sizoni eno, Kayemba agamba Villa nebwenalagawa, Masaka esigala nga gemaka gaayo.
Sizoni ewedde, Villa yakomawo e Masaka eranga mumweezi ogwokusatu nga 12 omupiira gwabwe ogwasooka bawangula Onduparaka FC 4-1 mukisaawe kya Masaka Recreation.
Ebiro ebyo bali batwalibwa Ben Misagga eyabaletera ne Hallelluya FC okuva e South Africa. Eno bazannya nayo mugwomukwano eranga mukumaliriza bajiwangula 4-2 mubiseera Wasswa Bbosa.
Wabula oluvannyuma lwokulemererwa okuwangula ekikopo, Misagga nebanne kyabakuba wala ekyabavirako nokuzaayo ttiimu eno e Kampala.
Ng’ogweeko Villa wano kubutaka, Kayemba naye omupiira gwabazungu gumunyumira. Muwagizi wa kkiraabu ya Arsenal lukulwe eyatandikibwaawo mu mwaaka gwa 1886.
Kayemba agamba ebulaaya amatiimu manji naye olwokuba nti yayagala nga nnyo omuzannyi Thierry Henry, yawawalizibwa okuwagira Arsenal.
Kayemba agamba nti omuzannyi Thierry Daniel Henry, myaaka 41, yamuwaliriza nga nnyo okulaba wakiri buli mupiira Arsenal gweyalinga erina okuzannya.
Ebimu kubyasinga okumumwagaza, bwebumaliririvu Henry bweyarina mukisaawe awamu nokubeera nekitone kyokukulembera bazannyi banne.
Kinajjukirwa nti Henry yegaata ku kkiraabu ya Arsenal mu mwaaka gwa 1999 oluvannyuma lwokusuulawo Juventus FC. Okujja kwe muttiimu ya Arsenal kwalimu omukono gwa Arsene Wenger olwensonga nti yeyamwoola kuviira ddala mu muttiimu ya Monaco.
Kayemba agamba nti Henry yakola buli kimu omuteebi yenna kyatekeddwa okukola. Annyumya nti amaggoolo geyabatebeera gabayamba nnyo okuwangula ebikopo awamu nokulaga amatiimu amalala agamaanyi nti ne Arsenal tewena.
Mumujoozi gwe ogwabeerangako nnamba 14, Henry, enzaalwa ya bbufalansa, yazannyira Arsenal nomutima gwegwonna. Wano yamalawo kumpi emyaaka munaana nabatebera ggoolo 228.
Mukaseera nga ebintu binji ebize bikyuuka kuttiimu ya Arsenal nga ne Henry, Kayemba gwagamba nti yeyamwagaza ttiimu eno yagenda dda, bwakuba ttooki muttiimu eno agamba ekyalimu omwaasi.
Kayemba agamba nti wansi womutendesi Mikel Arteta, Arsenal yensangi zino tezannya bubi. Wadde nga akyalaba Wenger ng’omutendesi akyasinze okumusingira kuttiimu ya Arsenal, Kayemba annyumya nti ne nkola ya Arteta simbi. Arteta mukiseera kino aweza emyaka 38 egyobukulu eranga ompiira yaguzanyirako mu kkiraabu ya Arsenal ne Everton nendala eziwerako.
Ebimu kubyalaba ebibagata munkola yemirimu gyabwe, mwemuli okuwa bamusaayi muto okwolesa kyebalinawo.
Kayemba agamba nti buli walaba abazannyi nga; Gabriel Martineli aweza emyaka 19 mukiseera kino kwogatta ne Emile Smith Lowe omungereza kayemba gwagamba nti naye omupiira ajjakuguzannya.
Kino agamba nti Wenger yeyali asinga okukikola naye olwokuba nti ne Arteta lyebala lyelimu lyeyajiddemu wakwongera okujiwagira.
Mubudde bunno Arsenal tekola bubi nnyo okutwalizaawamu. Enzannya yaabwe yakyukidde ddala wansi womutendesi Arteta wadde nga basembyeeyo kuwangulwa Liverpool ku Anfield 3-1.
Kukino, Kayemba agamba nti eyinza okubanga tegenda kuwangula liigi sizoni eno olwensonga nti Liverpool ekyalaze elyanyi lingi naye essuubi
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com