POLIISI ye Buziga etandise omuyiggo okusobola okukwata omuvubuka alabikira mu katambi akaafuniddwa okuva mu wooteeri emu e Munyonyo, nga ono agambibwa okuba nti yanyaze amasimu ga bakungu 4 ababadde bagenze ku mbaga.
Omuvubuka ono alabika nga atemera mu gy’obulu nga 25, kigambibwa nti yasumagizza abakungu abaabadde ku mbaga nakuuliita namasimu gaabwe okuli 3 ez’ekika kya I-Phone saako ne ya SumSung ezibalirirwamu obukadde bwe nsimbi za Uganda 15.
Akulira eby’okwerinda mu kkampuni ya Seroma Limited Ronnie Rwijema agamba nti bakola ekisoboka okusobola okukwata omuvubuka ono, nti era baataddeyo omusango ku poliisi ye Buziga oguli ku Fayiro nnamba SD;16/26/09/2020.
Agamba nti okusinziira ku katambi akaggiddwa ku wooteeri kaalaze nga omuvubuka oyo mu kifananyi ye yagenze ku mmeeza abakungu kwe baabadde balese amasimu gaabwe naganyakula era kkamera ne zimukwata nga afuluma okuva mu ekifo.
Asabye omuntu yenna amanyi amayitire g’omuvubuka ono okutemya ku poliisi emuli okumpi oba okumukubira ku ssimu nnamba 0777875726 oba 0703970474 ekirabo kya kakadde kalamba.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com