YOSEPH Mayanja amanyiddwanga Chameleon nga ono ye Ssabakunzi we kibiina kya Democratic Party DP, emirimu egyamuwebwa ekibiina kya DP agisuddewo, nasalawo okwegatta ku kibiina kya NUP ekikulemberwa omubaka Robert Kyagulanyi Sentamu, era nga kati obuufu abutunuulizza kusuuza Latif Sebaggala kaadi ya NUP ku kifo ky’obwa Loodi Meeya wa Kampala.
Ono nga kati amaze n’okujjayo empapula okuva ku kitebe kya NUP e Kamwokya agamba nti awatali kukubwa ku nsolobotto agenda kulaga omubaka Latif Ssebaggala kiki kye bayita akalulu mu Kampala, era akwate kkaadi ye kibiina kya NUP mu Kampala.
Mayanja gye buvuddeko yayanjulwa abakulu mu kibiina kya DP era nawebwa nomulimu gw’okukungira ekibiina kino obuwagizi, wabula omulimu abadde tanabaako wagutuusa ate nabuukira ekibiina kya NUP nga agamba ntoi ate kati mwayagala okuyita okufuuka Omuloodi we Kibuga Kampala.
Wabula abatunuulira ensonga bagamba nti wano wayolekedde ssi wangu nga bwakisuubira kubanga Sebaggala amaze ebbanga ddene nnyo ku lusegere lw’omukulembeze wa NUP Kyagulanyi Sentamu era nga abadde ateeka ne nsimbi mu kisinde kya People Power, okusobola okutambuza emirimu gyakyo.
Era kitegerekese nti bano era bagenda kuttunka n’eyaliko omuwabuzi w’omukulembeze we Ggwanga ku nsonga ze by’obufuzi Alhaji Nasser Ntege Ssebaggala nga ono ye Mukulu wa Latif Sebaggala, naye agamba nti tagenda kulekera muntu yenna kaadi ya NUP mu Kampala.
Enkalu era zikyali za maanyi ku ani agenda okukwatira NUP mu bifo ebyenjawulo mu Kampala okugeza nga mu kitundu kya Lubaga North, Kawempe South, Kawempe North nawalala.
Bwe yabadde ayaogerako ne bannamawulire ku lw’okubiri Mayanja yagambye nti mwetegefu okukulembera ekibuga kye Kampala nti kubanga abantu amaze okubayitamu abalabye baagala nnyo okukyusa obukulembeze.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com