OMUKULEMBEZE we Ggwanga era nga ye Ssentebe we kibiina kya NRM Yoweri Kaguta Museveni akyusizza mu bukodyo bw’okunoonya akalulu omulundi guno, kati essira agenda kusinga kuliteeka ku bantu ba wansi ababadde batalozebwako gye buvuddeko.
Museveni agamba nti abantu abakola emirimu gya wansi omuli abakyala abafumba emmere, ab’etikka emigugu mu butale, ba makanika nabala abakola emirimu egy’awansi bangi kyokka nga babadde tebafiibwako mu kulonda okuwedde, nga kati ayolekedde okubakwatirako mu mirimu gye bakola saaako n’okubajjayo bajje ku mwanjo ensi we balabira.
Omuyambi wa Ssentebe we kibiina kya NRM mu offiisi ye esangibwa Kyambogo Mukyala Milly Babirye Babalanda yategezezza bino, bwabadde asoma obukaba bwa mukama we Pulezidenti Museveni bwe yamutisse okubutwala eri abakunzi be Kibiina kya NRM mu zi Disitulikiti okuli Mukono, Buikwe, Kayunga ne Buvuma, ababadde bakunganidde ku ssomero lya Mukono Boarding School mu kibuga kye Mukono.
Babalanda bano abategezezza nti balina okuba omumuli gwa Pulezidenti Museveni mu kulonda okubindabinda, nti kubanga yakwatidde ebendera ekibiina kyabwe basobole okumuwangizisa waggulu.
“Banange kati mukama waffe Pulezidenti abasimbudde mugende mumulwanireko olutalo lw’okweddiza obuyinza mu kulonda kuno kubanga amaanyi ge gali mu mmwe abatuukira ddala wansi mu bantu baffe abawansi.
Tayagala musosole mu bantu nga munooya akalulu kubanga abantu bonna abagaala badde ku sayidi ye era atambulire wamu nabo mu mirembe n’okwekulakulanya sso ssi abatamuwagira kubagoba nga ate bandyagadde okwegatta ku kibiina” Babalanda bwagambye.
Ye omuyambi wa Pulezidenti ku nsonga za mawulire Yoseph Tamale Mirundi bwabadde ayogerako gye bali abasabye okuba ab’egendereza nga banoonya akalulu ka Museveni nti kubanga abantu baba balowooza nti bali ku musimbi munene gwe batuulidde songa bambi baba tebalina wano n’asaba abakulu mu offiisi y’omukulembeze we Ggwanga e Kyambogo okuyamba ku bakunzi ba pulezidenti babeemu ne ku nsimbi nga bagenda mu bantu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com