Dear, Basajja Mivule (Ssewakiryanga)
Munange kyanaku nti abantu bakuvumye ate nebakukokonjera era mazima sikyabwenkanya.
Munange Ssewakiryanga nzeno nzize nkugobelera era nokusisinka era nzijjukira bulunji lwenakusanga ku National Theatre nenkutegeeza nga bwenali omunakuwavu nga mukadde waffe Frank Gashumba avudde ku programme The Eagle, nontegeeza nga bwetaali nsonga kuba Gashumba tayagala Buganda.
Mumaaso go nalaba omuntu eyeyagaliza era wayogera ebigambo binji naye nesikitwaala nga Nsonga.
Kwolwo lwenyini lwenakugamba nti ebigambo ebirunji byoyogera wandibadde obissa ku facebook era nontegeeza nti kituufu era nonsaba tusisinkane yadde sakikola.
Kyemanyi nti byenjogera tobijjukira era nange tonzijukira yadde okummanya. Nange sijjukira naku zamwezi naye nzijjukira akaseera ako NBS Television yali etandise programme The Eagle era nga mukadde waffe Frank Gashumba yali agivuddeko.
Wattu leero nkulabye nga okozeseza facebook @Basajjamivule Official nogamba nti “NGENDA KUSANYAWO OBWAKABAKA
Tosubwa , ngenda kubera live ku Lw’okuna esaawa kumi ez’olwegulo. Ku Facebook – Basajjamivule Official Ne Ku YouTube – Basajjamivule Bwadene.
Share”
Munange no nsaba nkuwabule nti bwebakuserera mu katale toyombera mumasangazira. Nsabye nkutegeeze nti teri muntu gwebayita Buganda wabula Buganda bantu (Soma enono yekigambo buganda” .
Okwereega ku bwaKabaka olwabantu abolubatu tekikola makulu wabula lyowa mwoyo gwo okaanye nabakuvuma so si kulumbagana Buganda.
Mwana wattu ate nakulaba nga owakula entalo za mawanga nga olowozesa ensi nti abaganda ffena tutegeera nga gwe naye tekyasoboka.
Ebyo byoddamu mbu abaganda tebakuyamba, ffena tetulya Mengo era tetubanja Mengo. Tuli Baganda kuba kyekyo kyetuli. Okuwebuula nokuvumangana sikyikula kyaffe.
Nsabye nkujjukize nti mubuganda tetulya nga twogera era nsaba okuume enono. Ffe no abakuwuliriza tugwaamu amaanyi singa olumbagana Nnamulondo nobwakabaka.
Munange asirise teyejjusa era waliwo omukazi omukadde gwebayitanga Nabatanzi ewaffe empigi eyagereesanga nti ” Obusiru nyama Ya Ttako, Bagitwaala emanju evaako nyuma ate nga yelumwa” (Ssibyange).
Ekirara nsaba mukaseera kano weyambise amateeka agafugga omulimu gwabanamawulire wano wamanga nga tonasamwa sawamwa:
HumanityJournalists should do no harm. They should show sensitivity and care in their work recognising that what they publish or broadcast may be hurtful. It is not possible to report freely and in the public interest without occasionally causing hurt and offence, but journalists should always be aware of the impact of words and images on the lives of others. This is particularly important when reporting on minorities, children, the victims of violence, and vulnerable people.
A Journalist cannot always guarantee ‘truth’, but getting the facts right is the cardinal principle of journalism. Journalists should always strive for accuracy, give all the relevant facts and ensure that they have been checked.
Credits: From Gabriel Buule Facebook page
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com