TEKYALI kulanga kulala omuyimbi omwatikirivu Yoseph Mayanja amanyiddwa nga Jose Chameleon akakasiddwa nti yoomu ku beesowoddeyo okwesimbawo ku kifo kyoba Loodi Meeya wa Kampala nga ali wansi we kibiina kya NUP/ People Power.
Ono azze ku kitebe kya NUP e Kamwokya nga anaekedde mu ngoye za NUP ne Dp Block omukago agwatondebwawo bannakibiina kya DP okusobola okukolera awamu mu kulonda kwa 2021.
Yayaniriziddwa akulembera ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu Bobi Wine, bwe yabadde azze ne bannaDP abalala abasazeewo okwegatta ku kibiina kya NUP.
Kati kitegeeza nti engeri ne Loodi Meeya aliko kati Lukwago gyamaze okujjayo empapula okuvuganya ku kifo kino ku kaadi ye kibiina kya FDC, kati bagenda kubulonda ne Yoseph Mayanja nga ali ku kaadi ya NUP bannaKampala basalewo ku ani alina okubakulembera.
Ba kkansala ba Kampala Capital City Authority bangi naddala aba FDC bakyeyongera okusala eddiiro okudda ku side ya Kyagulanyi ekiteberezebwa okuba nti kuluno FDC eyinza okufuna obuzibu okufuna ba kkansala abawera mu lukiiko lwe kibuga.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com