EBY’OBUFUZI mu kitundu kye Buikwe South by’eyongeddemu ebbugumu bannakibiina kya NUP/ People Power bwe bayungudde omuvubuka envumuulo Ivan Sendege asigukulule Omubaka David Mutebi owa NRM aliyo mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu mu kiseera kino.
Sendege nga mukugu mu kubala ebitabo ate nga mulwanirizi wa ddembe lya baana kayingo, nzaalwa ya mu Buikwe South mwenyini era nga agamba nti buli kizibu bannaBuikwe kye bayitamu akimanyi kubanga gye yazaalibwa, gy’akulidde, gyasomedde era nakolerayo mu kitongole kya International Needs Network of Uganda ekitakabanira okusomesa omwana we Ggwanga mu Buikwe ne Uganda okutwalira awamu.
Ono gwe twasanze ku kyalo Buikwe Ward A mu Town Council ye Buikwe gyazaalibwa yategezezza bannamawulire bwati;
Nzaalibwa omwami Bendict Kugobera ne Maama Mary Nagita Kugobera abatuuze mu Buikwe Ward A, wano we nazaalibwa saako n’okukula kwonna, era nze mwana asooka mu luggya.
Okusoma kwange nakutandikira ku ssomero lya St. Balikuddembe Pulayimale elisangibwa mu Buikwe okutuuka mu kibiina eky’omusanvu, gye nava nga mpise bulungi ne neegatta ku ssomero lya Ngogwe Baskerville ne nsomerayo okuva mu siniya esooka okutuuka ku y’okuna.
Oluvanyuma neegatta ku ssomero lya Kisaasi College School elisangibwa mu Kawempe ne ntuulirayo siniya ey’omukaaga era ne mpita bulungi.
Nga ebigezo bikomyewo nasobola okuyingira ettendekero lye by’obusuubuzi MUBS ne nkuguka mu by’obusuubuzi ku ddaala erya Diploma, amangu ddala nga mmaze Diploma yange neeyongerayo mu Ttendekero ekkulu e Ndejje ne nsoma diguli yange eyasooka mu kubala ebitabo.
Bwe nali e Buikwe neegombanga nnyo abantu abasomye era nga okusoma okukuguka mu bintu ebyenjawulo kyali kirooto kyange, kyampaliriza okweyongerayo ne misomo era ne nkola diguli yange ey’okubiri mu by’obusuubuzi ku Ttendekero lya UMI mu Kampala.
Mu mwaka gwa 2011 nasalawo okufuna omubeezi era ngattibwa empeta nga nina emyaka 25 gyokka ne munange Racheal Sendege era kati tulina abaana 2.
Bwe nali nkula nayagala nnyo okubeera Puliida kubanga nalabanga abantu bangi mu kitundu kyaffe nga batulugunyizibwa awatali ayamba ne ngamba nti mukama bwalimpa omukisa okusoma okutuuka ewala ndikomawo ne mbawolereza naye tekyasoboka, wabula yadde nga nakuguka nnyo mu byefuna n’okubalirira ebitabo bwe nafuna omulimu mu kitongole kya Uganda Child Rights NGO Network nasalawo okwenyigira mu kulwanirira eddembe lya baana nga ngezaako okutuukiriza ekirooto kyange.
Wakati nga nkola omulimu guno nkoze ebintu bingi omuli n’okubangawo amateeka Gavumenti mwegendanga okuyita okukwasisa amateeka abatyoboola eddembe ly’omwana wa Uganda, nga neelisembyeyo lye likwata ku kisadaaka baana mu kiseera kino nga eteeka eyo liri mu bubage nga nze omu ku banoonyereza ab’okuntikko abalikolako.
Wakati mu kukola emirimu abantu bangi baganyuddwa mu ntuuyo zange kyokka nga kinnuma okuba nga ku ttaka gye nzaalibwa abantu bange tebanaba kuganyulwa nnyo mu mirimu gyange.
Mmanyi buli kizibu abantu baffe ab’eBuikwe South kye bayitamu kubanga byonna nange nabiyitamu kko nga nkula, Omuli eby’enjigiriza, eby’obulamu, amazzi amayonjo ne bilala.
Abantu be Buikwe South bafunye ababaka bangi naye nga omulimu omukulu gwe basinga okukola kwe kwogera ennyo naye nga ebikolwa wansi mu bantu tebilabikayo, okugeza abavubuka ewaffe bangi tebalina mirimu kyokka nga kyalo ne ttaka balilina naye ogenda okubasanga mu budde bwokumakya nga bazannya zzaala saako n’okukuba embekuulo ze by’obufuzi songa baba oluusi beetaaga bakulembeze kubasomesa butya bwe bayinza kukozesa ttaka okusobola okufuna ensimbi ezibabezaawo saako n’okubakwasizaako mu bintu ebitotono.
Ebilala Sendege byayagala okukolera abantu be Buikwe South
Nja kwettanira nnyo okunoonyeza abantu baffe obutale bwe birime nga akasooli, ebinyebwa ne mwanyi naddala ebweru we Ggwanga, kubanga bambi e Buikwe abantu balimi nnyo naye badondolwa nnyo abasuubuzi be mmere saako ne birime ebilala eby’ettunzi.
Ensonga y’okwongera okubunyisa amasanyalaze naddala mu byalo nkulu nnyo, kubanga Ensi kati etambulira ku misinde gya kizungirizi nga abatalina masanyalaze tebakyasobola kukola bizinensi.
Eby’obulamu e Buikwe South bikyali mu mbeera mbi nga amalwaliro agamu mu kitundu kino mafu nnyo, era nga bannabyabufuzi mu kitundu kino bagafaako mu biseera byakunoonya bululu, kye njagala kikome kubanga bannaBuikwe abeetaaga eby’obujjanjabi ebilungi.
Abakyala abo nina akaama kaabwe kubanga ngenda kufuba nnyo okulaba nga mbagatta wamu mu bibiina basobole okubaako kye bakola ekireeta ensimbi mu nsawo nga olwo lwe bajja okusobola okulabirira amaka gaabwe nga tebegayiridde baami ennaku zino abatafaayo mu kusomesa baana.
Enyingiza ya maka egenda kuba nsonga nkulu nnyo kubanga eno yetaagisa nnyo naddala mu kiseera nga abaana ba massomero bali waka, nga mukyo twagala abazadde bayigirize abaana okukola okusobola okwaza emmere mu maka okuli ey’okulya saako n’okutunda.
Sendege agenda kuvuganyiza mu Kibiina kya NUP/ People Power mu kulonda kwa bonna mu 2021.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com