MUNNAMAWULIRE Andrew Mwenda enkya ya leero ayingidde ekibiina kye by’obufuzi ekya National Unity Platform NUP ekikulemberwa omubaka wa Kyadondo East Robert Kyagulanyi Sentamu mu ngeri eyewunyisa.
Ekyamazima abamu ku bannaKibiina kya NUP beewunyizza okulaba omukulu Mwenda nga azze ataddeko enkofiira emyufu mu ngeri y’olusaago era nayanirizibwa mu mizira ekintu ekilese abasinga obungi nga beewunaganya oba ddala kituufu.
Ono ekiseera kyonna abadde avuma abawagizi ba People Power nga agamba nti bayaaye abatalina bya kukola, kyokka kati munnakibiina omujjuvu era awereddwa ne kaadi emukakasa mu kibiina.
Olumaze okwesogga NUP atandikiddewo okusaba olukungaana olwawamu n’omukulembeze Robert Kyagulanyi, basobole okukubaganya ebiroowozo mu lujjudde abantu basalewo ku ani asanidde okukwata kaadi ye kibiina mu kulonda okugenda okubaawo mu 2021.
Kino nakyo kyongedde okutiisa abawagizi ba Kyagulanyi nga abagamba omusajja nga atandikidde mu ggiya, kubanga babadde balowooza nti agenda kusooka kwetegereza bigenda mu maaso mu kibiina sso ssi kutandikira ku bifo ebyawaggulu.
Ono nga muntu nnyo wa Pulezidenti Museveni era nga abadde awaana nnyo obukulembeze bwa NRM ekimutanudde okwesogga NUP teri akimanyi okujjako ye ne Katondawe.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com