OKUVUGANYA ku kifo ky’omubaka omukyala akiikirira Disitulikiti ye Mukono kweyongeddemu ebbugumu, Omu ku basuubuzi mu Kampala bwayingidde olwokaano nga agamba nti kuluno ayagala kugonjoola nsonga ziruma bantu ba Mukono.
Sheilah Amaniyo Draville omutuuze ku kyalo Jinja Misindye mu Division ye Goma e Mukono yoomu ku beesowoddeyo okuvuganya ku kifo kino, oluvanyuma lw’abaddeyo Peace Kusasira Mubiru okukyabuulira naddayo e Rwampala gye bamuzaala.
Sheilah agamba nti obumanyirivu bwalina mu nsonga eziruma abakyala saako n’abaana tayinza kutuula butuuzi naatunula nga ebintu bigenda bubi mu Ggwanga.
Ono musuubuzi mu kibuga Kampala saako ne bweru we Ggwanga nga emirimu gye agiddukanyiza mu kkampuni emanyiddwa nga JABE Enterprises etuusa kuno ebintu ebikozesebwa mu maka saako ne ndala eya Good Man etuusa ebikozesebwa mu masomero ku bayizi abakola amasomo ga Saayansi.
Era ono ye Ssabawandiisi we kibiina kya LOTALE ettabi erye Mukono, kyagamba nti kino kimuwadde amaanyi okuvaayo okuvuganya ku kifo kino engeri gyali nti bulijjo abadde atambula mu bitundu ebyenjawulo nga batwala obuyambi mu bantu abatalina mewasirizi.
Twamutuukiridde mu makaage agasangibwa e Jinja Misindye mu Goma natutegeeza bwati ebikwata ku lugendo lwe saako ne by’obukulembeze bwe;
Nzalibwa omwami Ben Draville n’omukyala Jane Draville abatuuze be Kabowa mu Division ye Lubaga mu Kampala nga eno gye nazaalibwa saako n’okukulira.
Ebbanga lyonna mbadde muno mu Kampala saako ne Mukono nga okugenda e Mukono nasooka kugenda nasooka kugendangayo nga nsoma e Namagunga St Tereza Pulayimale.
Bwe navaayo neegatta ku ssomero lya Kampala Parents eyo gye natuulira eky’omusanvu, nga ebibuuzo byange bikomyewo nasaba bazadde bange banzizeeyo e Mukono mu ssomero lya St Mary’s e Namagunga gye natuulira ebigezo bya Siniya ey’okuna, era olw’abiyita nasaba ne nsigala e Namagunga okutuuka mu siniya ey’omukaaga, olw’emikwano gye nali nfunye mu Mukono.
Neeyongerayo e Makerere gye nakolera Deguli yange eyasooka mu ssomo lye by’obusuubuzi (Development Economics) era olwagimala ne nsalawo nzireyo e Mukono gye mba nsimba amakanda ne Famile yange.
Bwentyo nasikiriza omwami wange Juvinal Betambira naye okubeera e Mukono kubanga abantu bange ne mikwano abasinga baali babeera Mukono, ate olwo nail maze n’okwegatta ku bibiina by’okwekulakulanya ebiwerako omuli ne Lotale.
Wakati nga nkola emirimu gy’obwanakyewa ne Lotale tukoze emirimu mingi mu byalo bye Mukono omuli okugaba ebintu eby’eyambisibwa abakyala mu kuzaala (MAMA KITS), mu malwaliro agenjawulo, okugabira abayizi abatalina mwasirizi engoye ze basomeramu, engato saako n’okubawerayo ebisale ku masomero nga omu ku kawefube w’okusitula ebyenjigiriza mu kitundu kyaffe ekye Mukono.
Tubadde era tugenda mu byalo ne tutendeka abaana bato okwetandikirawo obulimulimu obutono mwe basobola okujja akasente okugeza nga okulima ebirime ebyettunzi, kye tulowooza nti okukuza omwana nga amanyi okwekolera kimuyamba okweyimirizaawo nga akuze.
Era mbadde neetaba mu mirimu egikolebwa ab’ekitongole kya Theresa Ministries Friends of Charity, nga muno tulabirira abaana abatalina bazadde, okubafunira eby’okwambala, okusoma ne bintu ebilala ebibayamba mu mbeera yabulijjo.
Lwaki ozze wesimbewo e Mukono.
Omanyi nze ndi mukyala ayagala okwekolera emirimu gyange omwami ansange nga nina we ntuuse, kale njagala okulaba nga abakyala bonna mu mukono babaako kye bakola okulaba nga basobola okuyimirizaawo ekitundu ku maka gaabwe.
Nja kwettanira nnyo okunoonyeza abantu baffe obutale bwe birime nga akasooli, ebinyebwa ne mwanyi naddala ebweru we Ggwanga, kubanga bambi e Mukono abantu balimi nnyo naye badondolwa nnyo abasuubuzi be mmere saako ne mwanyi.
Ensonga y’okwongera okubunyisa amasanyalaze naddala mu byalo nkulu nnyo, kubanga ensi kati etambulira ku misinde gya kizungirizi nga abatalina masanyalaze tebakyasobola kukola bizinensi.
Eby’obulamu e Mukono bikyali mu mbeera mbi nga amalwaliro agamu mu kitundu kino mafu nnyo, era nga bannabyabufuzi tubadde tukiraba nga bagafaako mu biseera byakunoonya bululu, kye njagala kikome kubanga bannaMukono abeetaaga eby’obujjanjabi ebilungi.
Abakyala abo nina akaama kaabwe kubanga ngenda kufuba nnyo okulaba nga mbagatta wamu mu bibiina basobole okubaako kye bakola ekireeta ensimbi mu nsawo nga olwo lwe bajja okusobola okulabirira amaka gaabwe nga tebegayiridde baami ennaku zino abatafaayo mu kusomesa baana.
Enyingiza ya maka egenda kuba nsonga nkulu nnyo kubanga eno ne mukadde waffe omukulembeze we Ggwanga Yoweri Kaguta Museveni agitaddeko nnyo essira, kye ndowooza nti singa nange mwegattako wajja kubaawo ekikyuka.
Sheilah agenda kuvuganyiza mu Kibiina kya NRM mu kamyufu akabindabinda olwo alyoke agende mu kalulu ka bonna mu 2021.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com