MUNNAMAWULIRE Abbey Sewakiryanga amanyiddwanga Bwaddene basajja Mivule ayimiriziddwa mbagirawo okukola ku Ttivvi ya Baba nga alangibwa okwogera ebigambo ebyawulayawula mu mawanga.
Ono era alagiddwa okusooka okwetondera Abanyankole bonna mu Ggwanga bwe kiba nga ayagala okudda okukola ku Ttivvi eno.
Kigambibwa nti bino byonna okubitegeera yabadde akomyewo okukola Pulogulaamu ye emanyiddwanga FUMITIRIZA ku mande, nga kigambibwa nti abakulu ku Ttivvi eno baabaddeko ensonga ze bakyamaliriza ne bitongole bye by’okwerinda.
Ono yali yakwatibwa okuva ku Baba e Ntinda wiiki ewedde naatwalibwa ku kitebe kya bambega ba poliisi e Kibuli ku bigambibwa nti yali ayise mu pulogulaamu ye gyakola okukuma mu bantu omuliro okutuusa obulabe ku bantu saako n’okutumbula obusosoze mu mawanga.
Oluvanyuma yayimbulwa nga wayise ennaku 2, era nga okuva olwo abadde taddangayo kugenda ku mulimu gyakolera.
Wabula bwe yakomyewo ku mande okukola abakulira Baba TV ne bakamutema nti alina okugira nga awummulamu okukola okutuusa nga bamaze okugonjoola ensonga.
Mivule bwe yabadde ku Radio 4 mu Pulogulaamu GWENSONGA ekubirizibwa Simon Muyanga Lutaaya yeetondedde abanyankole, era naalaga nga bwabadde takimanyi nti abamu ku baabadde ayita abanyankole okugeza nga Gavana wa bbanka enkulu Prof. Tumusiime Mutebile, Akulira akakiiko ke by’okulonda Justice Simon Byabakama nabalala ssi ba Ggwanga elyo nabasaba okumusonyiwa.
Wabula nga yadde yakoze kino tekinnategerekeka oba abakulu ku Baba TV banamuddiramu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com