EBY’OBUFUZI Muzannyo ennaku zino ogw’ettaniddwa ennyo abavubuka nga batuukiza enjogera egamba nti be bakulembeze ab’enkya.
Kati tukuletedde omuvubuka embulakalevu Abdu Malik Kiberu omutuuze ku kyalo Nabuti mu Division ye Mukono ayagala ekifo ky’okukiikirira abavubuka mu Buganda lukiiko lwe Ggwanga olukulu.
Kiberu owe myaka 26 gyokka nga Puliida omutendeke okuva mu Ttendekero lya Uganda Christian University (UCU) agamba nti okuva nga muto kibadde kirooto kye okukulembera ku bavubuka naddala ku mutendera ogwawaggulu, kubanga balina ebizibu bingi ate nga abakulembeze baabwe oluusi bibalema okukwatako.
Ono gwe twasanze nga agenda okwewandiisa ku kitebe kye kibiina kya NRM e Kyadondo, era nga awerekeddwako abakulembeze ba bavubuka okuva mu Mukono ne Disitulikiti endala yagambye nti, emu ku nsonga esinze okumuleeta kwe kulaba nga ensonga za bavubuka zivaayo bulungi mu Palimenti abakulu bonna bazitegeere nga lye limu ku ddagala elijja okubawonya ebizibu ebibazimbyeko akayumba.
Agamba nti alina obumanyirivu mu bukulembeze kubanga yaliko mu bukulembeze mu Ttendekero lya UCU e Mukono ate gye yava ne yeegatta ku Ttendekero ly’ebyekijaasi n’obukulembeze e Kyankwanzi gye yamala emyezi esatu bwe ddu nga atendekebwa okubeera omukulembeze ow’omulembe.
“Nga maze okuva e Kyankwanzi neegatta ku Ttendekero lya Liberty University mu America gye nakugukira mu bya mafuta ne Gaasi (Oil and Gas Management) nga eno yali Diguli yange ey’okubiri.
mu Ttendekero lye limu era naddayo ne nsoma diguli endala mu by’obufuzi ne nkulakulana mu bantu nga eno nayo nagimala ninda kuntikkira” Kiberu bwe yagambye.
Lwaki Kiberu yasalawo okudda mu Uganda
“Bwe nabeera mu America nakizuula nga teri kyamaanyi kiriyo ate nga n’abavubuka bannaUganda abaliyo babonaboona nnyo, kwe kusalawo okudda awaka abeeko kyayambako mu kusitula embeera za bavubuka mu Uganda.
Embeera ye bbula lye mirimu mu Uganda eri abavubuka yetaaga kusalira magezi kubanga abaana bangi abavubuka mu kiseera kino tebalina mirimu ekibaviiriddeko okudda ku mize omuli okukuba zaala n’okunywa enjaga.
Ku mulembe gwanga nga mpereddwa omukisa okubakulembera bino ngenda kubilwanako kubanga nakyo kifuuse kizibu, okugeza mu kiseera kino ekya Covid nga Sports Betting takola abavubuka babonyebonye nnyo kubanga baatuuka nokuba nga tebalina kye balya kubanga zaala baali baamufuula mulimu ekitali kituufu.
Twagala beenyigire mu by’obulimi, Obulunzi ne mirimu emilala obwa Ssemugayaavu mu bavubuka bugwewo.
Ono agenda kulondebwa abakulembeze ba bavubuka ba NRM mu Buganda okusooka oluvanyuma yeetabe mu kulonda okwe Ggwanga lyonna okwabavubuka mu 2021.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com