KYADAAKI eGgwanga Uganda lifiiriddwa omuntu asoose abadde yakwatibwa akawuka ka CORONA, Sennyiga eyalumba ensi yonna gye buvuddeko.
Bino bikakasiddwa Minisitule ye by’obulamu ku lw’okun nga 23.
Omumyuka wa Kkamisona we by’obulamu Richard Kabanda yakakasizza bino mu lukungaana lwa bannamawulire olubadde ku kitebe kya Minisitule ye by’obulamu.
Kabanda agambye nti afudde musajja wa myaka 34 nga ava mu Disitulikiti ye Namisindwa, ono kigambibwa nti yazuuliddwa nga alina obubonero bwe kirwadde kya Covid omuli omusujja, okukolora ekifuba ekikalu, omutwe oguluma nga kwotadde n’obuzibu mu kussa, era nawebwa ekitanda mu ddwaliro lya Wasungui HC II era nawebwa ekitanda ku lw’okusatu lwa wiiki eweddde.
Ono oluvanyuma yatwaliddwa mu ddwaliro lya Joy Hospice Healthy Facility e Mbale nga eno yayawuddwa ku balwadde banne oluvanyuma lwa basawo okwekengera era naafa ku lw’okubiri ku ssaawa 8.
Kabanda agambye nti olunaku lw’okusatu aba Minisitule ye by’obulamu baagenze e Mbale ne bajjayo ebimu ku bitundu by’omugenzi ne bitwalibwa Entebbe gye byakebereddwa ne bazuula nga kituufu yabadde Covid.
Yanyonyodde nti okwawukanako ne bibadde bifulumizibwa nti omuntu ono tabadde munnaUganda, agambye ddala kituufu muntu wa Ggwanga lya Uganda era abadde alina abantu 30 baabadde awangaala nabo kati bonna babatadde mu kalantiini okumala ennaku 14.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com