OMUMYUKA wa Sipiika Jacob Oulanya era nga ye Mubaka wa Omoro mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu akubaganye empawa ne Hon Sam Engola nga ono ye mumyuka wa Ssentebe we kibiina kya NRM mu mambuka ge Ggwanga, bwamujjukizza nti baatuula amulekere ekifo kino omulundi oguwedde nga agamba nti kino yakikola mu buntu bulamu naye alina okumulekera kati.
Bino byabaddewo ku lw’okubiri oluvanyuma lwa Jacob Olanya okujjayo empapula yeesimbewo ku kifo kino, kyokka mu ngeri yeemu ate nga ne Engola naye yabadde azze najjayo empapula zezimu.
Bwe yabadde ayogerako ne bannamawulire Olanya yagambye nti omukulu Engola baatuula mu kulonda kwa 2015 naamutegeeza nga bwe yali ayagala ekisanja ekisembayo, era nagamba nti waddembe okugira nga alindako okutuusa okulonda okujja.
Yagambye nti kino yakissaamu ekitiibwa kubanga bonna baali bantu bakulu kyokka ekyamwewunyisizza kwe kulaba nga ate musajja mukulu ajjayo empapula ku kifo kye kimu.
“Singa abantu bamanyi bandibadde banywerera ku kigambo kyabwe, naye mukadde wange bwasazeewo ate akomewo nga endagaano azimenye tewali kya kukola ka zaabike emipiira” Olanya bwe yagambye.
Sam Engola bwe yatuukiriddwa ku songa zino yagambye nti, ye talina ndagaano gye yali akoze ne Oulanya nagamba nti oyo “Oulanya” asusse okweyagaliza nga omuntu, kye yayise omululu gwe bifo by’obukulembeze.
“Omuntu omu yaalina ekifo ky’obubaka mu Palimenti, ye Mumyuka wa Sipiika, banange ewaffe teri bantu balala?” Engola bwe yewunyizza.
Engola olwamaze okujjayo empapula yagenze mu maaso nawerekerako ne Sipiika Rebecca Kadaga okujjayo ezize ku kifo ky’omumyuka asooka owa Ssentebe we kibiina, ekyayongedde okulaga mu lwatu nti ddala ekifo akyakyagaalira ddala.
Kigambibwa nti Sipiika Kadaga awagira nnyo Engola olw’ensonga nti bamaze ebbaga ddene nga tebalima kambugu n’amumyukawe Jacob Oulanya
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com