EBBUGGUMU mu kalulu k’obwaSsentebe bwa Disitulikiti ye Mukono lyeyongedde omu ku babadde bavuganya ekifo kino Omulangira Jonathan Mawanda bwavuddeyo nalangirira nga bwavudde mu lw’okaano nalekera munne abadde yakalangirira ku kifo kino Haji Haruna Semakula.
Kino kiddiridde bano bombiriri era nga bannakibiina kya NRM okutuula ku meeza ne bakkaanya okutambulira awamu, nga omu ku kawefube w’okutwala ekibiina kya NRM mu maaso saako n’okuwangula ekifo ky’obwaSsentebe kileme okutwalibwa ab’oludda oluvuganya.
Ku lw’omukaaga Haji Semakula yavaayo naalangirira nga bwe yali avudde ku kifo ky’obwaSsentebe bwa NRM, nga agamba nti engeri olukiiko olw’okuntikko olukulembera ekibiina gye lwali lw’ongezaayo okulonda munda mu kibiina, nasalawo okuvuganya ku ntebe ya Disitulikiti.
Mawanda ategezezza nti asazeewo awatali kuwalirizibwa, nalambika nti bwe yali ayagala okutandika kawefube w’okunoonya ekifo kino yasooka kutuukirira Haji Semakula era namuwa omukono, saako n’okumutegeeza bigendererwa bye, byatunuulidde nga ekyamazima bifananira ddala ebibye, nagamba nti ku lw’obulungi bwe kibiina asazeewo ekifo akiteere Semakula.
Agambye nti agenda kusigala nga muwulize mu kibiina kya NRM saako ne Pulezidenti Museveni, nagamba nti obuwagizi bwe bwonna agenda kubuzza ku Haji Semakula okulaba nga bazza Mukono ku ntikko.
Ye Haji Semakula mu kwogera kwe nga asinziira ku mukolo ogwategekeddwa ku Offiisi za NRM ku kyalo Butebe mu Division ye Mukono, alaze entekateeka gyalina eri bannaMukono, era ne yeyama okubakulembera obulungi ssinga bamukwasa ekifo ky’obwaSsentebe bwa Disitulikiti kubanga obusobozi abulina.
“Ngenda kubeera muwulize gye muli era ngenda kukola emirimu egigattako ku Mukono eyawamu sso ssi kutoolako, kubanga Katonda ampadde amaanyi ne nsobola okukola ebyange ne mikono gyange” Semakula bwagambye.
Ku mukolo gwe gumu Ssemakula era awaddeyo pikipiki 15 eri ba Ssentebe bamagombolola aba NRM ze yabagulidde, Eziwemmense obukadde obusoba mu 80 basobole okutambulirako nga banoonya akalulu ka bannakibiina saako ne Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.
Kati kino kitegeeza nti olw’okaano lw’obwa Ssentebe mu kamyufu ka NRM lusigaddemu Andrew Ssenyonga Ssentebe aliko kati saako ne Haji Ssemakula, anayitawo ajja kuttunka ne Rev. Peter Bakaluba Mukasa owa DP ne kisinde kya People Power.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com