OKUVUGANYA ku kifo kya Ssentebe wa Mukono Central Division kweyongeddemu ebbugumu elyamaanyi oluvanyuma lwa munna People Power omukukuutivu era nga ye Ssentebe we Kyalo ekimanyiddwanga Basiima Kikooza okuvaayo nalangirira okuvuganya ku kifo kino.
Kimbowa Tonny Ssonko 35 nga yinginiya wa mazzi, yaavuddeyo okuyuguumya Ssentebe Jamil Kakembo aliko kati saako ne munne Robert Peter Kabanda ababadde bamanyiddwa nti be bakyali mu nsiike.
Oluvanyuma lw’okuzaayo empapula ku kitebe kye kisinde kya people power e Kamwokya Kimbowa yagambye nti kati obwanga abwolekezza kuwenja kalulu ku buli kyalo ekiri mu Division ye Mukono, nagamba nti kino abadde yakyetegekera dda.
“Okuyingira eby’obufuzi nali nina ekigendererwa kyange nga omuntu kubanga nalaba nga abantu ba wansi abakulembeze babasiimulizaako nnyo ebitoomi, era bwe nali nzija ku bwa Ssentebe bwe kikooza bangi batuyisangamu amaaso okutuusa bwe twakola ennyoi ne tuwangula.
Abavubuka tulina okwebereramu nga mukadde waffe Kyagulanyi bwatukubiriza, nga kino kilina okweyolekera kumulundi guno kubanga naffe twagala tuwereze ku bakadde baffe abakuze mu myaka.
Obukulembeze kintu kilungi nga kino kyeyolekera mu mirimu gye nkoledde abantu bange ab’omuKikooza ne Mukono okutwalira awamu, era bangi baalowooza nti tetujja kukola olwe myaka ne ndabika naye buli muntu waali akkirizza obuwereza bwange” Kimbowa bwe yagambye.
Yategezezza nti ekisinde kya People Power akikoleredde nnyo era Kyagulanyi amuyita muganda we gwagambye nti yamusisinkanako gye buvuddeko namubuulira ku nsonga eno era ne bakkiriziganya ye nsonga lwaki tayagala kujjira mu kibiina kya byabufuzi kyonna.
Ezimu ku nsonga Kimbowa zagamba ezimuleese kuliko eby’okwerinda, amazzi amayonjo, eby’obulamu, okuyamba abavubuka okufuna eby’okukola ne bilala.
Ssentebe aliko kati Jamil Kakembo ekifo kino yakakimalamu emyaka 10 kati ate Robert Kabanda yaliko sipiika we kibuga kye mukono okumala emyaka 5.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com