ABAKADDE mu Disitulikiti ye Kalangala kuluno bandifuna ku suubi ly’omubaka omukozi era afaayo ku bantu be naddala mu mbeera mwe bawangaalira ku bizinga.
Essuubi lino batandise okulirozaako bwe baddukiriddwa ne bikozesebwa mu bulamu obwabulijjo omuli ssukaali, Ssabuuni, akawunga ne by’okulya ebilala okuva eri aluubirira okuba omubaka waabwe omukyala Helen Nakimuli.
Abatuuze be Buswaga mu muluka gwe Buwanga mu gombolola ye Kyamuswa be baasoose okuganyulwa mu ntekateeka eno, era nga abakadde abawerako nga nabamu balwadde baddukiriddwa.
Nga ayita mu kitongole kya “Plan Ahead Development Group” Nakimuli yategezezza nti kino bamaze ebbanga ddene nga bakikola ne kigendererwa eky’okuzaamu essuubi abantu abanaku abatalina mwasirizi abawangaalira mu bizinga bye Kalangala, be yayogeddeko nga abatatunuulirwa nnyo naddala abakulembeze ababaddeyo.
Agamba nti kuluno ayagala okulaba nga omuntu wa wansi oyo atatera kulowozebwako naye avaayo agabane ku keeki ye Ggwanga, gye yayogeddeko nga egabanibwa abantu boolubatu ne beegaggawaza bokka nga tebafuddeyo ku banaku.
“E Kalangala ffe twerabirwa abantu baffe teri abalowoozaako, songa Gavumenti ewereza ensimbi ne ziriibwa abantu abatono, songa nabalina okuzilondoola omulimu tebagukoze kimala” Nakimuli bwe yagambye.
Yanyonyodde nti bagenda kutandikawo kawefube wokuyamba buli mukadde ali obubi mu magombolola gonna agakola ekizinga kye Kalangala nga babasakira obuyambi bafune aw’okusula, eky’okulya, obujjanjabi ne bilala, olwo balyoke balabe bwe binatambula nga nokulonda bwe kutuuka ennamusa etuuke ku nnyooge.
Abakulembeze n’abatuuze baasimye ebyawereddwa abantu baabwe era ne bamusuubiza obuwagizi mu kulonda okubindabinda.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com