Ekibiina kya Democratic Party olunaku lwe’ggulo kyalonze obukulembeze obuppya obugenda okuddukannya ekibiina mu district ye Mukono.
Olukiiko olwalondeddwa lukulemberwa mayor we’kibuuga Mukono George Fred Kagimu kati nga ye ssentebe omuggya namyukibwa Badru Lutaaya, Francis Lukyamuzi ye muwandiisi namyukibwa James Kasirivu, Omutaka Kaddu Namutwe ye yalondeddwa ku buwaniika so nga Zirimala Kiggundu ye mwogezi we’kibiina namyukibwa Nkangi Julius Omuliika we Kyaggwe nabalala.
Kinajjukirwa nti ekibiina kya DP mu district ye Mukono kirimu ebiwaayi bibiiri okuli ekikiririza mu mubaka Betty Nambooze Bakireke akikirira ekibuuga Mukono mu lukiiko lwe’ggwanga olukulu wamu nekikiririza mu mayor we’kibuuga kyekimu George Fred Kagimu nga bano mu kalulu agaggwa mu 2016 gwali gubasaza mu kabbu era nga kigambibwa nti omu ye maama wa munne mu byobufuuzi nti naye bafuuna obutakanya wakati mu lugendo era nga kati bali kabbwa na Ngo!
Mu kulonda kuno abava mu nkambi ya Nambooze tebalabiseko era nga nababadde basobodde okujja ku Festino Cite okulonda wekwabadde tebakiriziddwa kuyingira olwensonga ezitalambuludwa bulungi.
Omubaka Betty Nambooze yabadde ssentebe wekibiina kino okutuusa gyo lyabalamu bweyategeza nti tagenda kuddamu kwesimbayo okusoboola okuwa omwagannya abalala.
Ebiwaayi bino bize bigugulana naye nga entabwe evira ddala ku ntiiko mu bukulembeze bwekibiina era nga ekiwaayi kya Nambooze kyagobako ssentebe wekibiina mu ggwanga Norbert Mao obutaddamu kulinnya kigere mu Mukono bwebali bategeka Dp re-union okuzamu ekibiina kyabwe amannyi nga bamuvunana okukuta ne Kagimu okutuuza enkiiko mu Mukono ate nga ssentebe wekibiina ali mu ddwaliro.
Ssentebe omulonde George Fred Kagimu yaweeze okusosowaza okugatta banakibiina ekirabiika nga kyabulukuukamu buli kiseera naye ekibuuzo kiri nti kino kinasobooka kitya nga ssentebe yomu kubakulembera ebiwaayi ebigugulana.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com