ABBAS Ssozi omu ku baluubirira okutwala ekifo ky’omubaka mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu owa Munisipaari ya Mukono adduukiridde abantu naddala abakadde abaakosebwa omuggalo ogw’asibuka ku kilwadde kya Covid 19 gye buvuddeko.
Ono agamba nti ekyamazima abatuuze mu kibuga kye Mukono mu kiseera kino bali mu mbeera mbi nnyo, nga beetaaga okuyambako kubanga ne mmere eyabawebwa Gavumenti elabika yabaggwako dda.
Abaduukiriddwa kubaddeko omukyala Nakato Jane owe emyaka 63 nga mutuuze ku kyalo Kavule ekisangibwa mu kibuga Mukono ng’ono alabirira abazukulu 16 nga ono asula mumuzigo ogwa muwebwa mugandawe natutegezeza nti ayita mubugubi bwa manyiokulabilira abazukulu bamulekwa abaana be bebamulekera era nga abazira kisa bebamuyambako okubalabirira no okubasome.
Nakato yategezza nga abazukulu bwe bali bagenda mukatale nebanonya kukasente nabamu nebabakwatirwa ekisa kubawa kumere batwalire jjajja wabwe olwo no nabafuna kye bafumba ekiro. Kyoka kati tamanyi kyakuzako oluvanyuma lwo okugoba abantu mukatale
Mu mbeera eno wavuddeyo omuzira kisa Abassi Ssozi Ssegujja n’abaako obuyambi bwamuwa omubadde akawuga, sukaali, sabuni saako ne sente ekalu.
Wetutukidde owe Nakato tusanze avva wa ssentebe we kyalo kino Ann Kayitiro amutwale mu kibiina ekiwoola sente bamuwoleyo emitwalo 150000/= agate ku zalina asobole okuzimba mu ka poloti ke akayumba kettaaka.
Nakato yadde ng’ali mu kibuga Mukono agamba nti teyafuna kawuga ka gavumenti nga mu kiseera kino abazukulu bebayiiya eky’okulya mu katale k’omukiko ng’embeera mwali tesanyusa, era ono asimye mukulu Ssozi olw’okumuddukirira n’ebintu.
Ye Mastulah Nabakooza omutuuze w’omukikooza alojja engeri ekilwadde kino gye kimukosezamu n’abazukulu be era ono olumuwadde emmeere nalajjana nti alina obuzibu bwa manda.
Nabakooza asimye eky’okubawa ababaka mu palimenti nti banno bakubayamba okutusaayo ebirowoozo byabwe.
Mu balala abaawereddwa obuyambi mu baddemu omukyala Zawedde Enfurance owe Kigombya ng’ono yafuna akabenje kati emyaka musenvu ne Tereza Mukamusoni basimye olw’obuyambi obubawereddwa nebategezza ng’okulya bwekubadde kubasomoza ennyo saako n’obulwadde nga tebasobola kugenda mu malwaliro.
Banno era bakulumidde gavumenti olw’obutabafaako ate nga balina obwetavu bungi omuli eby’okwebika n’ebirala ate nga ne nsimbi z’abakadde zebasubiza tezituuka nga kyokka nga bawagizi ba pulezidenti.
Yye Abassi Ssozi Ssegujja awaddeyo obuyambi bunno ategezezza nga bakadde bwebali mu mbeera embi kuba abaana babwe abandibalabiridde emilimu tegitambula, ate nga n’emmere mu bitundu ebimu e Mukono teyatuuka.
Ono asabye gavumenti eyambe ku bantu banno kuba balina obwetavu bungi, ono kunsonga ya bakise babakadde agamba nti tekimala kuba ensonga zabwe ziri wansi nga bakise bagenda kwekusa bokka, ng’eno esanidde okukolayo enteekanteeka eyegyawulo kuba bangi betaaga obuyambi omuli bulagiti, Amanda n’ebirala.
Yye Justine Nayiga Waiswa Nabakyala wa Nsuube A asimye obuyambi obuwereddwa abakadde banno nti kuba babadde mu bwetavu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com