EMBEERA ye by’obufuzi mu Ttundutundu lye Busoga ekyongera okukwata akati, Mu kitundu kye Kamuli omu ku baali abasolooza b’omusolo abakulu mu kitongole kya URA bwe yesowoddeyo avuganye omukubiriza w’olukiiko lwe Ggwanga olukulu Rebecca alitwala Kadaga ku kifo ky’omubaka omukyala akiikirira Disitulikiti ye Kamuli.
Deborah Mugerwa Mwesigwa Omwana enzaalwa eye Nawansanso, mu muluka gwe Busole, mu Gombolola ye Kitayunja, mu Ssaza lye Bugabula South e Kamuli ye yesowoddeyo okusuuza Kadaga entebe ewooma, nga agamba nti emyaka egikunukkiriza 30 omukulu ono gyamaze mu bukukulembeze bwe Kamuli gimumala okulekera ku baana abalala ab’ekitundu nabo babeeko kye bakola ewabwe.
Guno gugenda kuba mulundi gwa 2 nga Mugerwa avuganya Kadaga, era nga ne mu kalulu ka 2016 babbinkana bonna ku tikiti y’ekibiina kya NRM.
Ono gwe twasanze mu maka ga bakadde be agasangibwa ku kyalo Nawansanso yategezezza bwati omusasi wa Watchdog;
Nazalibwa ku kyalo Wansanso mu maka g’omugenzi Rev. Gastavas Kirigoola saako ne maama Apofia Lubuga Kirigoola nga ono mukama akyamukuumye nga mulamu, Mu maka ga kitange twazaalibwa abaana 6 era nga nze nsembayo obuto, Ndi mukyala mufumbo era omwami wange ye Eng. Gerald Majjera Mugerwa era nga nze nkulira abakyala Abakatoliki mu Ssaza lye Lugazi
Okusoma kwange nakutandikira ku ssomero lya Kamuli Girls Primary, ne neeyongerayo ku ssomero lya MM. Colleage Wailaka, nga eyo gye natuulira siniya yange ey’okuna, bwe navaayo nga mpise bulungi neeyongeraayo e Kampala mu ssomero lya Migadde Collage gye nakolera siniya ey’omukaaga, oluvanyuma ne neegatta ku Yunivasite ye Makerere gye nakugukira mu kubangula abantu abakulu saako n’okusitula embeera zaabwe (Adult and Community Education) BASE.
Oluvanyuma neeyongerayo mu Ttendekero lya Uganda Management Insititute UMI ne nkola Diploma yange mu ssomo lya Public Adminstration(Post Graduate), naddayo mu ttendekero lye limu era ne nkola Diguli ey’okubiri mu Management Studies wansi wa (Public Adminstration)
Awo neegatta ku kitongole ekisolooza emisolo ki URA nga omusolooza we misolo era ekiseera bwe kyayitawo ne ntendekebwa ku kubalirira n’okugereka emisolo.
Nze omu ku bantu abatandika omusolo gwa VAT ogw’ayogeza abantu ebigambo ebingi era mu ngeri eyo nali omu ku baaguteekesa mu nkola saako n’okugwagazisa abantu abaali batagutegedde bulungi.
Mu mwaka gwa 2005 neegatta ku kitongole kya mateeka ekya URA wansi wa (Debt Collection Unit), era ne nkwasibwa omulimu gw’okusolooza omusolo mu kitongole kino kubanga mu kiseera ekyo nali omu ku bakozi abaali bakuguse ennyo mu kusolooza omusolo mu Ggwanga.
Wano ekitongole kyagenda mu maaso ne kitondawo omusolo ogulina okugerekebwa ku bizimbe era nze ne yali mukama wange Robina Lutaaya Lubwama ne tukwasibwa eddimu ly’okugutekesa mu nkola ekitaali kyangu nnyo kubanga nagwo gwali muggya nnyo mu Ggwanga.
Nebaza Katonda nti nagwo twasobola okugusomesa abantu ne bagutegeera era ne tubabuulira ne bilungi ebigulimu, ekyatwanguyiza ennyo omulimu okugusolooza nga tewali kusika muguwa nga kino era kyatuyamba n’okwogerezeganya na Bayindi Pulezidenti be yali addizza ebyabwe okubalambika saako n’okulaba nga basasula bulungi omusolo.
Oluvanyuma neeyunga ku kitongole ekikwasisa amateeka mu URA, era ne ntendekebwa mu kusolooza omusolo okuva mu bantu ababa bagaanye okuguwa mu bugenderevu, ekyewunyisa nti bagenda okunkwasa ekitongole kino nasanga basolooza ensimbi obukadde 40 buli mwezi, nga eno nagenda okuvaayo nga ngukyusizza okutuuka ku buwumbi
50 buli mwezi.
Kino nakituukako nze ne banange nga tukolaganira wamu nabatuuze saako abasuubuzi, naddala mu mbeera y’okubaagazisa okusasula mu bulungi nga tebakakiddwa ekyatuwa ettutumu mu bannaUganda.
Mu mwaka gwa 2015 nasalawo okulekulira emirimu gyange mu kitongole kya URA yadde nali emyaka gikyali mito, ne nsalawo nzireyo eka e Kamuli mpereze abantu bange be nali nzudde nga embeera gye balimu ssi yamulembe.
Lwaki nasalawo okuddayo ewaffe okulwanira ekifo ky’omubaka omukyala
Bwe nali mu kitongole kya URA nateranga okuddayo kko ewaffe ku kyalo era abataka nga bambuulira ebizibu byabwe mu kiseera ekyo, nga omusolooza we misolo kyankwatako nnyo okulaba nga abantu be nkiikirira tebafiiriddwako kyokka nga nze omwana wabwe sente ze Ggwanga nze nzisolooza okugenda mu ggwanika okukola emirimu.
Obwavu ewaffe be baana baliwo, olumu ntuuka n’okuloowoza oba nga ddala e Kamuli eliyo abakulembeze? oba ddala waliwo ensimbi eziwerezebwa okukola emirimu ewaffe okuva mu Gavumenti? kubanga abatuuze bali mu mbeera mbi nnyo songa tukiikirirwa omuntu ali mu kifo eky’okumwanjo mu Gavumenti.
Nakizuula nti waliwo omuwatwa munene nnyo wakati wa bantu ba bulijjo e Kamuli saako n’abakulembeze, kubanga nakitegeera nti Gavumenti ne Pulezidenti ensimbi baziwereza okukola emirimu kyokka zegabanyizibwa bantu abolubatu awatali alondoola okulaba oba zituuse oba nedda.
Abaana abawala ewaffe bafuna embuto nga bakyali bato ne kibaviirako okuva mu massomero nga bakyali bato, okugeza abamu bafuna embuto nga bali mu kibiina kya kutaano, kyokka bambi ne batafiibwako ekivaamu kuyingira bufumba nga bakyali bato.
Kino nno kyatutiisa nnyo kubanga mu mwaka gwa 2018 Kamuli ye Disitulikiti eyasinga okuvaamu omuwendo gwa baana abato abazaala nga baali 7000.
Kino kyandetera okutandikawo ekitongole ekitongole ky’obwanakyewa ekikola emirimu gy’okuyamba abawala bano mu magombolola okuli Namwendwa, Kitayonjwa ne Namasagali nga eno abaana bangi bayambiddwa okufuna eby’okukola oluvanyuma lw’okuzaala nga bakyali bato.
Ebigendererwa byange mu Kamuli eyawamu
Nja kwettanira nnyo okunoonyeza abantu baffe obutale bwe birime naddala ebweru we Ggwanga, kubanga bambi ewaffe abantu balimi nnyo naye badondolwa nnyo abasuubuzi be mmere.
Ensonga y’okwongera okubunyisa amasanyalaze naddala mu byalo nkulu nnyo, kubanga ensi kati etambulira ku misinde gya kizungirizi nga abatalina masanyalaze tebakyasobola kukola bizinensi.
Eby’obulamu e Kamuli bikyali bubi nga amalwaliro mu kitundu kino gonna mafu nnyo, era nga bannabyabufuzi beeno bagafaako mu biseera byakunoonya bululu bwokka kye njagala kikome kubanga bannaKamuli nabo bannaUganda abeetaaga okufaako nga abalala.
Ensonga y’obwegassi egenda kuba ku mwanjo nnyo kubanga okukulakulana okw’omuggundu we kugenda okutandikira.
Okugatta abantu mu kiseera kino nsonga nayo nkulu nnyo kubanga abasinga babadde beeyawuddemu nnyo olw’ebyobufuzi ebitabayamba nga essira tugenda kuliteeka nnyo ku kubayigiriza kukola basobole okwejja mu bwavu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com