OMUBAKA wa Gavumenti mu Disitulikiti ye Sembabule Mathias Kintu Musoke agamba nti kuluno ka gwake ke ttonnye azzeyo ewaabwe mu Kalungu East avuganye ku ntebe y’obubaka mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu mu kulonda okubinda binda.
Ekifo kino mu kiseera kino kilimu Minisita we by’obulimi Vicent Bamulangaki Ssempijja era nga ku mulundi ogwaggwa Kintu Musoke yavuganya Sempijja nawangulira watono.
Tukuletedde ebyafaayo bya Kintu Musoke mu bujjuvu bye yatunyumirizza mu mboozi eyakafubo bwe tumusanze ku limu ku dduuka lye elitunda emmere ye binyonyi ne bisolo elisangibwa e Kajjansi mu munisipaari ya Makindye Ssabagabo.
Nazaalibwa nga ennaku z’omwezi 02.11.1985 ku kyalo Kalungu ekisangibwa mu Gombolola ye Kalungu mu Disitulikiti ekiseera ekyo eyali emanyiddwa nga Masaka gye baakutula kati okufuuka Kalungu.
Kitange ye mwami Francis Kavuma ne Maama ye Sarah Namutebi abatuuze ku kyalo Bukulula ekisangibwa mu Gombolola ye Bukulula e Kalungu.
Okusoma kwange nakutandikira mu ssomero lya Mukoko Musilim Pulayimale, ne neyongerayo ku New Standard P/S elisangibwa e Kisanje era eno gye natuulira ekibiina ky’omusanvu.
Eno ebibuuzo byagenda okudda nga mpise bulungi era ne neegatta ku ssomero lya St. Bendict SS Bukulula Mukoko mu Siniya esooka.
Neeyongerayo mu Wagwa SS e Lukaya, oluvanyuma ne neegatta ku ssomero lya King David High School gye natuulira siniya ey’okuna.
Wano neegatta ku Nnyendo Mixed SS mu siniya ey’okutaano era olw’agimaliriza ensimbi ne zigolongotana okukkakana nga nvudde mu kusoma ne ntandika okukola emirimu nsobole okufuna ensimbi nzireyo nsome siniya ey’omukaaga.
Kino mu kusooka tekyasoboka mangu wabula ne nfuna omukisa ne neegatta ku Ttendekero lya High Learning Insititute and Business Professionals e Masaka gye nakolera ebbaluwa yange esooka mu Mawulire.
Amangu ddala nga nakamala okukuguka mu mawulire era ne nkolako ne Leediyo ya Buddu ne Equator FM nga omusasi wa mawulire omutendeke, bwe nafuna ensimbi ne nzirayo okutuukiriza ekirooto kyange eky’okumala siniya ey’omukaaga era neegatta ku Equator Collage e Nalukolongo mu Kampala ne mmaliriza ebigezo byange ebya siniya ey’omukaaga era ne mpita bulungi
Olw’okuba nali njagala nnyo okusoma mu bulamu bwange bwonna neegatta ku Yunivasite ye Makerere ne nkola Diguli yange esooka mu by’obusuubuzi kubanga nali mu kiseera ekyo nfuuse musuubuzi mukukuutivu mu Masaka ne Kampala.
Okuva mu buto bwange nayagala nnyo okwekozesa emirimu egivaamu ensimbi, era nasomanga nkola, nasuubulanga amaggi nga ngatwala ku mwalo e Bukakatta ku kagaali, ate nga bwe mba nkomawo naleetanga ensawo za mukene ne nziguza abakola emmere ye bisolo omwali ne mukwano gwange akola kati emmere ye mbizzi emanyiddwa nga Big Pig e Lukaya.
Nali muvuzi wa Boda Boda kayingo era abatuuze mu Masaka ne Bukulula bantegeera bulungi, eyo gye nava ne nkola Garagi ekanika amagaali ne Pikipiki.
Nagenda mu maaso ne nfuna omutima ogwagala okuwerezaako ku Ggwanga lyange, era nansalawo okwegatta ku Ggye lye Ggwanga nga mpitira mu LDU Reserve Force nga omudduumizi waffe yali Kasajjagirwa mu kiseera ekyo.
Nakuzibwa ne nfuuka omuduumizi wa ba LDU bonna mu Kalungu era ne nkola emirimu gye by’okwerinda mu Kalungu wamu ne basajja bange byonna ne bigenda bulungi.
Naliko omukuumi wa RDC we Kiboga James Mukiibi Serunjogi nga oyo yoomu ku bantu abanjagazisa ennyo eby’obufuzi saako ne kitange mu by’obufuzi era nga mukwano gwange nnyo nga ono yeyaliko SsabaMinisita wa Uganda Owekitiibwa Kintu Musoke.
Amangu ddala nga nga mpumudde omulimu gw’obusilikale natandikawo omulimu gw’okugula ettaka n’okulitunda, saako n’okuzimba amayumba nga bwe ngatunda, omulimu gwe nkyakola nakati.
Nze Dayirekita wa MAKI Investment Apartments, Amakkolero agakola emmere ye bisolo ne binyonyi, okwaluza enkoko saako okulima n’okulunda.
Natandikawo MAKI Royal Resort e Bukulula, kkampuni ye bye ntambula emanyiddwanga MAKI Transporters era mu kiseera kino nina abantu bangi be nkozesa nga omu ku kawefube w’okufunira abavubuka emirimu.
Ensonga lwaki nvuddeyo okuvuganya nate
Olw’okuba ndi mulimi omukukuutivu era omulunzi kayingo njagala okulaba nga Kalungu afuuka ekimu ku bitundu bya Uganda omuva emmere eriisa abantu bonna mu ggwanga kubanga buli kimu tukirina ne ttaka lyaffe ddungi nnyo okuzaama.
Ssagalira ddala ddagala kkolerere okuva mu mawanga ge bweru abalimi lye bateeka ku birime byaffe, kubanga eryo lye livuddeko okwononeka kwe ttaka ewaffe kye njagala okugobera ddala mu Kalungu.
Nja kwettanira nnyo okunoonyeza abantu baffe obutale bwe birime naddala ebweru we Ggwanga, kubanga bambi ewaffe abantu balimi nnyo naye badondolwa nnyo abasuubuzi be mmere.
Ensonga y’okwongera okubunyisa amasanyalaze naddala mu byalo nkulu nnyo, kubanga ensi kati etambulira ku misinde gya kizungirizi nga abatalina masanyalaze tebakyasobola kukola bizinensi.
Eby’obulamu e Kalungu bibadde bikyali bubi nga amalwaliro mu kitundu kino gonna mafu nnyo, era nga bannabyabufuzi beeno bagafaako mu biseera byakunoonya bululu bwokka kye njagala kikome kubanga bannaKalungu nabo bannaUganda abeetaaga okufaako nga abalala.
Ekyamazima Katonda ampadde, nga abantu bangi beetaaga okubaako bye banjigirako, era nga ensonga y’obwegassi egenda kuba ku mwanjo nnyo kubanga okukulakulana okw’omuggundu we kugenda okutandikira.
Okugatta abantu mu kiseera kino nsonga nayo nkulu nnyo kubanga abasinga babadde beeyawuddemu nnyo olw’ebyobufuzi ebitabayamba nga essira tugenda kuliteeka nnyo ku kubayigiriza kukola basobole okwejja mu bwavu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com