EKITONGOLE ekigatta bannamawulire mu Ggwanga ki Uganda Journalists Association kivuddeyo okuyingira mu nsonga za munnamawulire munaabwe Yusufu Baliruno of Uganda mu kiseera kino alaajana oluvanyuma lw’okufuumulwa okuva mu Leediyo y’obujjajja CBS nga tasasuddwa nsimbi ze yakolera okumala emyaka 20.
Baliruno yoomu ku bannamawulire be byemizanyo abaatikirivu mu Ggwanga era nga amanyiddwa nnyo mu kuwereza emipiira gyamasaza ku Leediyo ya CBS saako n’okuwereza emipiira gye Ggwanga ebweru wa Uganda.
Kyokka mu kiseera kino alabibwako ku mikutu gya mawulire egy’enjawulo nga alaajanira abakulembera ekitongole kya CBS olw’okumulyazaamanya ensimbi ze zakoledde emyaka 20.
Mu kusooka Baliruno yategeeza nga bwe yali akolera emitwalo gya Uganda kkumi gyokka, kyokka nga ne gino abakulira CBS batuuka ekiseera ne balemwa okuzimusasula ekintu ekyamukola obubi ennyo ate mu kiseera ekyo yali afunyemu ekilwadde ekyali kimubala embirizi.
Agamba nti bano yadde yabakolera obuteebalira naye tebaamulabawo era ekyamaanyi kye baamusasudde kwe kumukasuka wabweru wa CBS nga tebamusasudde kyokka nga mugonvugonvu.
Kino kye kireseewo akasattiro mu bannamawulire era akulira ekitongole kya UJA Kazibwe Bashir naasalawo okuyita olukiiko lw’okuntikko olufuzi amangu ddala okuteesa ku nsonga za Baliruno.
“Ekituufu tetunnaba kusisinkana Baliruno ne baabadde akolera aba CBS, naye nga tubadde tugoberera buli kimu ku mikutu gya mawulire, kati obwanga tugenda kubwolekeza bakamaabe aba CBS tulabe kye bagamba” Kazibwe bwagambye.
Anyonyodde nti nga abakulembeze ba bannamawulire tebagenda kutunula butunuzi nga bannamawulire abakulu mu mulimu guno batulugunyizibwa abakozesa, nagamba nti bagenda kulaba nga boogera nabakulira CBS wabeewo ekikolebwa okuyamba Baliruno.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com