BANNAUGANDA ababadde beesunga obukokolo obubikka ku mimwa ne ku nnyindo Gavumenti bwe yagamba okugaba obw’obwerere bagenda kugira balindako ennaku endala 3 mu maaso oluvanyuma lwa makampuni agaweebwa olukusa okubukola okuba nti tebannaba kumaliriza.
Olunaku lwe ggulo Pulezidenti Museveni bwe yabadde ayogera eri e Ggwanga ku lunaku lwa bazira yagambye nti, Masiki za Gavumenti ez’obwerere zaabadde zakutandika kugabwa leero ku lw’okusatu mu bantu naddala abali ku zi Disitulikiti eziri ku nsalo ze Ggwanga.
Omuwandiisi owe nkalakkalira mu Minisitule ye By’obulamu Diana Atwine agambye nti okugaba zi masiki zino tekugenda kusoboka olwaleero oluvanyuma lwa makampuni agakwasibwa omulimu guno okuba nti masiki ze basooka okukola zagaanibwa abakola ku mutindo gwe bintu ebikozesebwa mu Ggwanga, era ne bakkaanya okuddamu okukola endala zirina emibiri 3 nga bwe kyalagirwa aba Minisitule ye by’obulamu saako ne Kabinenti.
Atwine agamba nti amakkampuni mu kusooka gaali galagiddwa okukola Masiki za mibiri 2, kyokka naye bwe kyakyusibwa okudda ku mibiri 3 kitegeeza nti omulimu gwali gulina okuddamu buto, okusobola okufuna ekituufu kye nnyini.
Akulira ekitongole kye bintu ebikozesebwa mu Ggwanga Dr. Ben Manyindo agambye nti, bamaze okufuna Masiki ezaddibwamu okukolwa okuva mu kitongole kye by’obulamu nga kati bali ku mulimu gw’okuzikebera kyagambye nti kyanditwalayo ennaku endala 3.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com