MINISITA wa Kampala ne miriraano Betty Amongi alidde mu ttama nasalawo okuyimiriza enkungaana zonna ezibadde zirina okugenda mu maaso ku kitebe kya KCCA ki City Hall wakati mu kawefube w’okutangira ekirwadde kya Covid okweyongera okusaasana.
Ekiragiro kino we kijjide nga wabaluseewo akasattiro abamu ku bakungu abatuula ku kitebe kino okukeberebwa ne bazuulibwamu ekirwadde kino wiiki ewedde.
Kino we kijjidde nga Omuloodi Erias Lukwago abadde ayise olukiiko lwa ba Kkansala olwa mangu okusobola okuteesa ku nsonga ezigenda mu maaso mu kibuga Kampalaokuli entambula za Takisi saako ne Boda Boda mu kibuga Kampala.
Olukiiko luno era lubadde lwa kwogera ku nsimbi akawumbi 1 ezawebwayo Gavumenti okulwanyisa ekirwadde kya Covid 19 mu Kampala engeri gye zasasanyizibwa.
Kyokka kino tekilobedde Amongi kusazaamu nkungaana zonna ku City Hall era naalagira buli mukozi mu kitongole kya KCCA akeberebwe ekirwadde kya Covid awatali kwekwasa nsonga yonna.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com