GAVUMENTI kyadaaki efulumizza entekateeka egendereddwamu okukkiriza bannaUganda abali emitala wa mayanja okudda okwabwe nakakwakkulizo nti buli ayagala okudda alina okusooka okukeberebwa ekirwadde kya covid 19 nga tebannalinnya ku ttaka lya Uganda.
Minisita we nsonga z’ebweru we Ggwanga Sam Kahamba Kuteesa agamba nti bano bali 2400 be bakyawagamidde mu Nsi 66 okuva ekirwadde kya Covid 19 bwe kyazingako ensi yonna ebisaawe bye nnyonyi ebyenjawul;o ne biggalwa mu okwetoloola amawanga eg’enjawulo.
Agamba nti bano bagenda kukkiriziobwa okwekomyawo bokka ku nsimbi ezaabwe naye nga bamala kukeberebwa abyebyobulamu mu mawanga ekirwadde gye kyabasanga.
“Abantu baffe abakwatirwa mu mawanga ag’enjawulo ssi bangi nnyo tusobola okubalabirira naye ekizibu baasasaana bali mu nsi nnyingi, era kyova olaba nti twetaaga okusooka okutegeka butya bwe bayinza okuzzibwa nga bali mu mbeera nnungi, baleme okufuukira ekizibu abantu mu byalo gye bagenda okulaga” Kuteesa bwe yategezezza Palimenti.
Yagambye nti era bagenda kufaayo nnyo okulaba nga abantu bano bakebereddwa bulungi, era ne bazuulibwa mnti tebalina kirwadde kyonna okusobola okubatambuza ku nnyonyi nga tebasiize banaabwe balala.
Abantu abali mu Ggwanga lya Bugereza bajja kukeberebwa bamale ennaku 10 balyoke badde ate abali e Buwalabu bakumala ennaku 6.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com