MUNNAUGANDA John Sentongo kati ze mbuyaga ezikaza engoye oluvanyuma lw’okufa ekirwadde kya Corona ekibadde kimugoya mu ggwanga lya Bugereza.
John Sentongo ono kitegerekese nti mutuuze we Mukono era nga yabadde omusika w’omugenzi Rev. Canon George Willison Sekitooleko eyawereza mu kkanisa ya Uganda okumala ebbanga eddene naddala mu bulabirizi bwe Namirembe.
Ono era yabadde akulira Pulogulaamu ye ntanda ya Buganda Diaspora, ebadde etegekebwa buli mwaka nga omu ku kawefube w’okutumbula olulimi oluganda mu baana abato abawangaalira mu mawanga ga Bulaaya saako n’obwaKabaka bwa Buganda, era nga yabadde akiikirira omukulu we kika kye nkima mu mawanga ga Bulaaya.
Okusinziira ku mukulu we Stephen Sewannonda yagambye nti lwe yasemba okwogerako naye yali amulaga nga bwayagala okwogerayo mu maaso enteekateeka ye Ntanda ya Buganda Diaspora mu Kibuga Manchester omwaka guno nti kyokka byonna tebisobose.
Kigambibwa nti ekilwade kya Corona kyamukwata mu nnaku ntono eziyiseewo naafuna obujjanjabi nti kyokka okuwona tekisobose.
Amawulire g’okufa kwa Sentongo gaakubye wala abaaliko abayizi mu ssomero lya Bishop SS e Mukono mu myaka gya 1980 nti kubanga buli mwaka abadde ajja ne yetaba mu kujaguza olunaku lw’abaaliko abayizi mu ssomero lino.
Eby’okuziika kwe tebinategerekeka.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com