OMUBAKA akiikirira e Ssaza lye Buvum mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu Robert Migadde Nduggwa azzizaayo ensimbi obukadde 20 ze yafuna okuva mu Palimenti ezaali ez’okulwanyisa ekirwadde kya covid 19.
Ensimbi zino ennaku zino ababaka bonna betanidde okuzizaayo oluvanyuma lwe kiragiro kya Kkooti saako n’okusaba kw’omukulembeze we Ggwanga zizzibwe ku bukiiko obulwanyisa ekirwadde kya Covid mu ma Disitulikiti gonna gye bakiikirira.
Bwabadde azikwasa abakulembeze ba kakiiko akatondebwawo okulwanyisa ekirwadde kya Covid e Buvuma, Omubaka Migadde agambye nti abadde alina okutuukiriza obuvunanyizibwa, kilagiro kya kkooti nga kwotadde n’omukulembeze we Ggwanga kubanga naye ayagala okulaba nga Abavuma tebakosebwa kirwadde kino.
Yasabye abakulembeze ba kakiiko saako n’akulira abakozi okukozesa obulungi ensimbi zino, naddala nga bakola ku nsonga zenyini ezetoloolera ku by’obulamu bwabantu ku bizinga bye Buvuma sso ssi kuzizza mu byabwe kubanga oluvanyuama balina okukola embalirira yaazo.
Ku nsimbi era Migadde Abavuma abagatiddeko obuuma 3 obweyambisibwa mu kupima obubonero bwe kirwadde kya Covid, nga buno bugenda kuteekebwa ku nsalo z’amagombolola naddala ago agali okumpi ne Nsi ezisalagana ne kizinga kye Buvuma, nga eno abantu abawera beeyongera buli kadde okusala ne bayingira Buvuma nfa badduka ekibabu ekiri ewaabwe.
Era abatuuze abongedde akawunga akaweredde ddala ttani 5 nga agatta ku ke yasooka okuwaayo, eby’eyambisibwa abakyala mu kuzaala (Maama Kits) Obutaawo obweyambisibwa abatambulira ku mazzi (Life Jackets) Elyato Ambyulensi nga kwotadde ne byeyambisibwa mu kunaaba mu ngalo omuli ebidomola Ssabuuni ne Sanitizas.
Abatuuze be Buvuma basanyukidde Migadde olw’okubalowozaako mu kaseera kano akazibu ne beeyama okumutunulamu nga ekiseera kituuse.
Ekizinga kye Buvuma kye kimu ku bizinga mu Ggwanga ebilina ensalo n’amawanga agatulinaanye okuli Kenya ne Tanzania nga eno abantu bangi bayingira mu Uganda buli olukya nga bayitira ku mazzi ekibadde kyerarikirizza nnyo ab’ebyobulamu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com