ABANYARWANDA abazaalibwa saako n’okukulira mu Buganda bavuddeyo ne beesammula ebigambo bye bayise ebityoboola abakulembeze, munaabwe Frank Gashumba bye yayogedde ku katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga wiiki ewedde.
Bano abeegattira mu kibiina ekimanyiddwa nga Uganda Young Banyarwanda Cultural Development Inniciative (UYBCDI) mu kiwandiiko kye basindise eri abakulira ttivvi y’obwakabaka BBS nga kitereddwako omukono Ssentebe wabwe Joseph Rwigema bategezezza nti ebigambo ebiyisa amaaso saako n’okutyoboola Katikkiro wa Buganda Owekitiibwa Charles Peter Mayiga, Munyarwanda munaabwe Gashumba bye yayogedde wiiki ewedde tebyabasanyusizza nakatono.
Rwigema agamba nti bangi kubo baazalibwa mu Buganda mwe bakulidde, bajjajja baabwe ne bakitaabwe bonna okuva edda bassa ekitiibwa mu bwaKabaka, okwagala saako n’okukolaganira awamu n’obukulembeze bwa Buganda saaako ne Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.

Anyonyodde nti engeri gyali nti yalondebwa Ssabasajja Kabaka yenyini, ebigambo ebilimu okutyoboola Katikkiro Gashumba bye yayogedde tasobola kukkiriziganya nabyo.
“Twesammulira ddala ebigambo ebyayogeddwa muganda waffe Frank Gashumba, kubanga obwedda buli waaba ayogera nga ajuliza okuba omunyarwanda, songa ffe tumanyiddwa okuba abantu abawulize eri obwaKabaka, era tusaba embeera eno essibwe ku Mwami Gashumba nga omuntu sso ssi Banyarwanda nga e Ggwanga.
Tusuubiza okwongera okuba abawulize eri obwaKabaka bwa Buganda bwe tumaze ebbanga eddene nga tukolera saako n’okutambulira awamu, Katikkiro saako ne Kabaka” Rwigema bwategezezza.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com