EMBEERA y’ekirwadde kya Covid 19 ekyazingako e Ggwanga lyonna tekikomye ku kugoya bantu ba bulijjo bokka wabula ezingiddemu ne bannamawulire abagasaka, abagasunsula saako n’abakozi abalala mu makampuni bannamawulire gye bakakkalabiza emirimu gyabwe, omuli okutegeeza e Ggwanga ku buli kintu kyonna ekigenda mu maaso, okusomesa nga bakozesa emikutu gino saako n’okusanyusa abantu.
Ennaku zino abakulira amakkampuni amanene okuli Vision Group, Nation Media saako ne mikutu gy’amawulire egy’obwaKabaka baasalawo okukendeeza ku misaala gye baali basasula bannamawulire ekintu ekikosezza ennyo embeera yaabwe nga abantu naddala mu kiseera kino nga buli kimu kyesibye.
Bano tebakomye wano wabula bagenze ate mu maaso ne batanula okusala ku bakozi saako n’okujjulula zi kontulakita zaabwe abasinga ne bagobwa ku mirimu nga tebetegese.
Kino nno kivuddeko bannamawulire bangi okubeera mu kutya nga naabamu batandise okupondooka okukola emirimu gyabwe kubanga nga batya nti bayinza okugumira okukolera mu mbera eno kyokka okuwunzika nga bagobeddwa.
Yadde nga omukulembeze we Ggwanga yakkiriza bannamawulire okutambula mu kiseera nga e Ggwanga lyonna liggaddwa, era nga bakolera mu bugubi bungi okusobola okutuuka mu buli kifo kyokka kyewunyisa nti ne ku musimbi ogwawebwayo okutambuza ebitongole ebyenjawulo mu kiseera kya Covid 19 bbo tebalowozebwako yadde.
Bannamawulire ekyamazima babadde bagumye n’ekyokusalwako ku nsimbi z’omusaala omutono ogubadde gubasasulwa kyokka bakama baabwe ate we batandise okubagoba kyongedde okubeelarikiriza ennyo.
Ssabawandiisi we kitongole ekilwanirira eddembe lya bannamawulire mu Ggwanga ki Human Rights Network For Journalists Uganda HRNJU Henry Lubuulwa agamba nti byonna byandibadde biguumikirizibwa kubanga mu kiseera kino buli muntu akilaba kya kanayokya ani nga ne nsimbi ntono naye tebagenda kugumikiriza bakozesa ba bannamawulire abagenda okugoba abakozi baabwe awatali nsonga nambulukufu.
Lubuulwa agamba nti mu kiseera kino buli muntu anoonya kyakulya n’okulabirira abantu b’omumaka gaabwe, naye ate bwagobwa ku mulimu kiba kibi nnyo ayinza n’okwetta, nasaba abakulira ebitongole byamawulire okukomya okugobaganya bannamawulire mu kiseera kino.
“Naffe tukkiriza nti embeera ssi nungi naakamu naye bakama baffe tubasaba mugumikirize bannamawulire kubanga kye muyitamu nabo kye bayitamu mu kiseera kino ekizibu” Lubuulwa bwe yagambye.
Yagambye nti ekitongole kisuubira emisango gya bannamawulire mingi nga akaseera k’omuggalo kawedde nasuubiza nti bannamateeka b’ekitongole beetegefu okuyambako nga baleteddwa ensonga mu maaso gaabwe.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com