MUNNAMAWULIRE Joseph Tamale Mirundi alaze agamba nti talabawo mbeera yonna eri Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni kulaga muntu yenna agenda kumuddira mu bigere mu kiseera kino, kubanga ye alaba nti yandiba nga akyaliwo emyaka 10 emilala mu maaso.
Mirundi agamba nti mu kiseera kino singa museveni avaayo naalaga omuntu yenna agenda kufuna entalo nnyingi mu kibiina kya NRM, nagamba nti ekyo mugezi tasobola kukikola.
Abadde ku Pulogulamu ya One on One With Tamale Mirundi ku NBS ng ayanukula ku bigambo bya Pulezidenti Museveni bwe yagambye engeri yokka ey’okufunamu omusikaawe kalulu kokka nga abantu beesaliddewo.
Museveni yagambye nti abamubuuza omusika balina okukimanya nti bannakibiina kyakulembera ekya NRM bokka be balina obuyinza okusalawo ku muntu anamuddira mu bigere, era nagamba nti abalina obusobozi mu kibiina kye bangi nnyo kyokka nagaana okunokolayo omuntu yenna.
Kati Mirundi agamba nti mu kiseera kino Museveni tayinza kwetantala kunyega ku kino kubanga ye akyaliwo ate ebbanga ggwanvu ko, nga mu kino akyalina ebbanga okutehgeka omuntu anamuleka nga awummudde mirembe awatali kutataganyizibwa kwonna, saako n’okukuuma aba Famile ye.
“Kati awo ssinga alonda omuntu namutwala mu kkooti ye nsi yonna? ku Museveni gwe mmanyi akyalwo nnyo ate taynza kukola ekyo mu kiseera kino, ekilungi mwamulabye n’amaanyi akyagalina” Tamale bwe yagambye.
Abantu abasinga bamaze ebbanga ddene nga bafumitiriza ku mberera nga Pulezidenti Museveni avuddewo, era nabamu ne batandika okusonga ku bantu ab’enjawulo okumuddira mu bigere, kyokka ekyewunyisa buli gwe balowooza naddala abamubadde okumpi bakomekkereza basambiddwa wala.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com