OMUKULEMBEZE we Ggwanga Yoweri Kaguta Museveni alaze nga bwatalina ntekateeka yakwongezaayo kalululu ka 2021 nga abasinga bwe babadde bamugamba.
Ono agamba nti ekilwadde ekyamazima kitataaganyizza entekateeka y’okulonda naye bwe kiba kimaliddwawo mu mwezi gw’omukaaga omwaka guno tewali kuwanaanya kwonna akalulu kaakugenda mu maaso nga entekateeka za kakiiko ke by’okulonda bwe zaali.
“Nze silina mutawaana gwonna ku kugenda mu maaso nakunoonya kalulu kubanga Uganda yategekebwa ku musingi ogwa Demokulasiya nga abantu be balina okwesalirawo ku bakulembeze be baagala okubakulembera nga bayita mu kalulu ka bonna, kale ekilwadde bwe kiba kiwonye olw’okaano abaagala okuvuganya bajja ku lwesogga.
Naye tetujja kukkiriza bantu kukungaana singa tuzuula nti ekilwadde kikyalimu, olw’okuba tetwagala bantu baffe kulwala tujja kuyimirizaamu kko eby’okulonda byonna naye ssi banga ggwanvu” Museveni bwe yategezezza bwe yabadde ku ttivvi ya NBS mu mboozi eyakafubo.
Yanyonyodde nti bagenda kutunula mu mbeera ye kiseera abantu kye bamala nga banoonya akalulu kye yayogeddeko nti kinene okusinziira mu ntekateeka ya kakiiko ke by’okulonda, agamba nti kilina okukendezebwako.
Museveni era yalaze obukulu bw’okwongera okwekuuma ekilwadde kya Covid okusobolaokukiziyiza obutasaasana mu bantu, nagamba nti bamaze okwogeramu ne Mukulembeze munne owa Kenya okusala amagezi butya bwe bagenda okukwasaganyamu engeri y’okukebera abavuzi be bimotoka ebinene ebitambuza ebyamaguzi.
Ku nsonga y’okuyamba bannaUganda abakwatiirwa ebweru we Ggwanga Museveni yagambye nti nti engeri ekilwadde gye kyazingako eggwanga mu ngeri ya lutalo, kyasanga tewali yetegese ate nga buli muntu yalina okusigala we yali, nagamba nti bagenda kukola ekyetaagisa okulaba nga bayambibwa nga bwe baakola ku bayizi abaali bafunye obuzibu mu ggwanga lya China mu kibuga Wuhan.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com