EBIGAMBO byongedde okukaayira RDC wa Disitulikiti ye Jinja Erick Ssakwa abadde yaggalirwa gye buvuddeko, ate bakamaabe bwe basazeewo ne bamuyimiriza ku mirimu gy’obubaka bwa Gavumenti bwabaddeko mu bitundu bye Jinja mbagirawo.
Mu bbaluwa kanaluzaala eyawandiikiddwa nga 4 omwezi gw’okutaano, era nga yatekeddwako omukono omuwandiisi mu Offiisi ya Pulezidenti Haji Yunus Kakande era nga yawereddwako ne Minisita avunanyizibwa ku nsonga z’obwa Pulezidenti, Akulira abakozi mu offiisi y’omukulembeze we Ggwanga, Ssakwa yenyini saako n’akulira eby’obukessi mu Disitulikiti ye Jinja DISO, yalaze nti okuva Mwami Ssakwa bwe yaggulwako emisango omuli ogw’okutta omuntu mu butanwa, obubbi saako n’okwonoona ebintu, era nasimbibwa mu kkooti omulamuzi naamusindika mu kkomera nga 24 ogw’okuna, abakulu basazeewo agira ayimirizibwa ku mirimu.
Ekiwandiiko kilaze nti ono era ayimiriziddwa mbagirawo okukola omulimu gwonna ogw’ekuusa ku offiisi y’omubaka wa Gavumenti e Jinja saako n’obutaddamu kufuluma ggwanga nga tategezezza ku muwandiisi omukulu mu offiisi ya Pulezidenti.
Ono era alagiddwa nti agenda kuba nga afuna omusaala gwa kitundu okutuusa nga ekiragiro kino kiggiddwawo oba nga alagiddwa okudda ku mirimu alyoke afune omusaala ommujjuvu, saako n’okuwaayo buli kintu kyonna ekya Gavumenti kyabadde akozesa eri DISO we Jinja era nga ono yagenda okugira nga alabirira offiisi y’omubaka wa Gavumenti mu kiseera kino kyonna.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com