ABAKUNGU 4 abaali baakwatibwa ne baggalirwa ku byekuusa ku kwongeza omuwendo gwe nsimbi ezaali ez’okugula emmere Gavumenti eriise abantu mu kiseera kya Covid 19, kyadaaki bayimbuddwa ku kakalu ka kkooti okuva mu makkomera gye babadde baasibirwa.
Christine Guwatudde Kintu Muwandiisi ow’ekalakkalira mu offiisi ya Ssabaminisita, Joel Wanjala Omuwandiisi omuto mu offiisi yeemu, Martin Owor nga ono ye kkamisona avunanyizibwa ku bigwa bitalaze saako ne Fred Lutimba amyuka kkamisona avunanyizibwa ku kugula ebintu be bayimbuddwa ku mande oluvanyuma lw’okumala mu nkomyo ebbanga lya ssabiiti 3 mu makkomera okuli Kigo ne Kitalya.
Abavunanibwa nga bayita mu ba Puliida babwe okuli Macdusman Kabega, Fred Muwema, Medard Ssegona, Evans Ochieng ne Joseph Kyazze babadde baasaba kkooti eyimbule abantu baabwe bawoze nga bava bweru.
Yadde nga oludda oluwaabi olubadde lukulemberwa Josephine Namatovu lubadde lusabye omulamuzi Doreen Karungi aleme okuyimbula abasibe nga lugamba nti bano babadde bayinza okutaataganya obujulizi nga bali bweru kyokka bino byonna abigaanye nagamba balina eddembe lyabwe okuteebwa ku kakalu ka kkooti.
Omulamuzi Karungi abalagidde buli muntu okusasula ensimbi obukadde 3, ate ababeyimiridde nabalagira basasule obukadde 20 obw’obutaliiwo.
Era abalagidde okuleeta Pasipooti zaabwe mu kkooti nga 4 omwezi gw’omukaaga nga lwe lunaku lwe balidda okuwulira omusango gwabwe.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com