ENSONGA z’omubaka wa Gavumenti e Jinja Eric Ssakwa eyakwatibwa gye buvuddeko naggalirwa z’eyongedde okubijja, bwaganiddwa okweyimirirwa nga bannamateekabe bwe baabadde basabye, ate n’ekitongole ekilamuzi ne kivaayo ne kitegeeza nga bwe kigenda okuvunana abawagizi be abagambibwa okuzinda kkooti.
Ssakwa yakwatibwa gye buvuddeko ku misango omuli okubba, okwonoona ebintu saako n’okutta omuntu mu butanwa era naasindikibwa mu kkomera e Buseesa mu Jinja okutuusa nga 13 omwezi gw’okutaano.
Wabula okuva olwo abawagizi be babadde bakeera ne bazinda kkooti e Jinja nga bagamba nti baagala omuntu waabwe ateebwe nti kubanga talina musango, wabula mbu waliwo akabinja ka bantu naddala bannabyabufuzi n’abasuubuzi abali emabega w’okumusiba bwe yabalemesa okubaako eby’obugagga bye beezibika mu Jinja.
Bannamateeka ba Ssakwa ku mande baabadde basabye omulamuzi ayite omuntu waabwe okuva mu kkomera yeyimirirwe kyokka omulamuzi ne yeerema nga agamba nti balina okulinda olunaku lwe yaweebwa okudda mu kkooti.
Bino byonna bwe byabereddewo nga abantu abayitirivu bali mu kibangirizi kya kkooti e Jinja balaga obutali bumativu eri omuntu waabwe okusibwa, era nga nabamu baabadde bakutte ebipande ebyabaddeko obubaka obusuuta Ssakwa ate nga buvumirira bamu ku bannabyabufuzi mu Jjinja olw’okwekobaana ne baggalira omuntu waabwe.
Omukawanaganya we mirimu mu kitongole ekilamuzi James Kalemani yagambye nti bagenda kuwalirizibwa okuggulawo emisango ku bawagizi ba Ssakwa, kubanga ebikolwa by’okuzinda Kkooti tebikkirizibwa, nabasaba oba alina kye beemulugunya bayite mu mitendera emituufu omuntu waabwe ateebwe.
“Tetugenda kuddamu kuguumikiriza bumenyi bwa mateeka saako n’okutiisatiisa abalamuzi baffe, era abantu ba Ssakwa bwe banaddamu okuzinda kkooti tugenda kubakwata tubagguleko emisango” Kalemaani bwe yategezezza.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com