OMUBAKA wa Gavumenti e Jinja Eric Ssakwa olwaleero ebintu bimwononekedde era musajja wattu lwakitegedde nti agenda kusula mu kkonmera okumala ennaku ezisoba mu 15 nga ali nabamu ku bantu baabadde asindikayo.
Ku ssawa nga musanvu ku lw’okutaano waalabissewo akasambattuko mu kibangirizi kya emu ku leediyo mu Jinja nga abasilikale ba kakiiko akatekebwawo Pulezidenti okulwanyisa obulyi bwe nguzi ne bikolwa ebitulugunya abantu akakulirwa Lt. col. Edith Nakalema bainzeeko ekifo kyonna nga bayambibwako Poliisi ye Jinja.
Oluvanyuma bano basikambuddeyo RDC Ssakwa okuva mu Leediyo ne bamukunguzza okutuuka ku kitebe kya Poliisi ekikulu e Jinja gye basanze nga Fayiro okuli emisango egimuvunanibwa yawedde dda okutegeka era ekiddiridde ne bamutwala mu kkooti e Jinja gyasanze nga omulamuzi yamulindiridde dda.
Omulamuzi Ann Happpy Kobusingye amusomedde emisa ngo egyamugguddwako okuli Ogw’obubbi, Okutta omuntu mu butanwa saako n’okwonoona ebintu mu kiseera kyabadde akola obutebalira okutekesa ebiragiro by’omukulembeze we Ggwanga myu nkola wakati mu kawefube gwalimu okusobola okuziyiza ekirwadde kya covid 19.
Kigambibwa nti Ssakwa nga akolaganira wamu n’abakuuma ddembe baliko semaka amanyiddwa nga Charles Isanga gwe baazinduukiriza ku kadduuka ke mu budde bwe kiro ne bamukuba, okumujjako sente ze yali akoze kulwo saako n’okubba omwenge ekika kya waragi eyali atundibwa mu kaduuka ako.
Oluvanyuma Isanga yafa mu ngeri etategerekeka nga ab’enganda ze okufa kwe bakuteeka ku miggo emiyitirivu egyamukubwa Ssakwa ne basajja be, gye bagamba nti gyamuviirako omusaayi okwesiba naagwa wansi teyadda ngulu, ab’oluganda lwe kwe kusalawo okwekubira enduulu eri ab’obuyinza.
Abantu mu Jinja abamu babadde bamaze ebbanga nga beemulugunya ku RDC Ssakwa olw’okubatulugunya, kyokka ate ekyewunyisa abalala bakira babeera bamusuuta olwe mirimu gyakola mu kitundu omuli okulwanyisa ababbi mu makkolero agali mu kibuga kye Jinja.
Agenda kuzzibwa mu kkooti nga 13 omwezi ogujja.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com