MUNNAMAWULIRE Farida Nakazibwe akola ne kitongole kya NTV ayolekedde akaseera akazibu ku mulimu gwe, oluvanyuma lwa bakamaabe nabo ebigambo okubasobera, bwe yavaayo gye buvuddeko naalumba omukubiriza w’olukiiko lwe Ggwanga olukulu Rebecca Alitwala Kadaga gwe yayogerako nga asusse okukozesebwa okunyagulula e Ggwanga.
Nakazibwe okutuuka okutaama kyaddirira ababaka ba Palimenti okuvaayo ne beewa omusimbi obuwumbi 10, ensimbi ze bagamba nti zaali zakubayambako okuddayo mu bitundu byabwe basomese abantu ebifa ku kirwadde kya COVID 19 saako n’okugula amafuta mu zi Ambulensi zaabwe okutwala abalwadde mu malwaliro, ekintu ekyawawaaza ennyo e Ggwanga.
Abantu abasinga kino baavayo ne bakivumirira nga ne Nakazibwe mwomutwalidde, era ne bagenda mu maaso ne balumba omukubiriza w’olukiiko lwe Ggwanga olukulu Rebecca Kadaga, bwe yavaayo nagaana omuntu yenna okuddamu okwogera ku bikwata ku nsimbi zino.
Nakazibwe nga ono yakola Pulogulaamu ya Mwasuze mutya ku NTV ne Spark TV yagenda mu maaso naawandiika ku kibanja kye ekya TWITTER, nga agamba nti nga yye omu teyali mumativu n’ababaka saako ne Sipiika Kadaga mu kitiibwa kye okwewa ensimbi buli omu obukadde 20 nga bannansi bafa enjala, Wano yamugerageranya ku kalimpitawa, nti eno abantu olumala okugikozesa nga esuulibwa eba tekyalina mugaso gwonna.
Kino kyatankuula abantu bangi era ne bagenda mu maaso ne balumba Nakazibwe ku mikutu gya mawulire emigatta bantu nga bagamba nti atyoboodde Sipiika we Ggwanga, wewaawo nga ate abamu baamuwagira ku nsonga gye yaliko.
Kino kyamuwaliriza okuddamu okuwandiika ku mukutu gwe ne yeetonda ku bye yawandiika nga agamba nti asaba Sipiika Kadaga amusonyiwe olw’olulimi lwe yakozesa nga awandiika, kyokka naalaga nti tasobola kwetonda ku kyababaka okutwala omusimbi obuwumbi 10 zaagamba nti zaaliyambye nnyo bannansi mu kiseera kino ekizibu kye bayitamu.
Wabula ensonda mu NTV zilaga nti abakulu abatwala ekitongole kino ssi basanyufu ne mbeera eno, nti kubanga Omukozi waabwe yayonoona ekifananyi kya kkampuni yabwe mu maaso g’omuntu omukulu mu ggwanga, era nga ssawa yonna bayinza okubaako okusalawo kwe bakola ku Nakazibwe sinakindi okugobwa okuva ku NTV.
Bano bagamba nti yadde yeetonda naye era kyali tekimala kubanga ebigambo bye yakozesa byali bisongovu nnyo kye bagamba nti bwe bamusigaza bayinza okufuna obuzibu.
Nakazibwe mukyala amanyiddwa nga ateerya ntama naddala nga waliwo ensonga ezinyigiriza abantu ba bulijjo atera okuvaayo naabako kyayogera.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com